Awonye ennyonta ya waya…..
Omuyimbi Derrick Ddungu amanyikiddwa nga Rickman asonyiye muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba era kati omukwano guzzeemu okutinta.
Rickman ne Sheilah baludde nga balina obutakaanya nga kigambibwa Rickman abadde alumiriza Sheilah nti asukkiridde obwenzi.
Rickman ng’omusajja omuyimbi, yasalawo okwesonyiwa Sheilah wadde muwala alabika bulungi.

Kigambibwa Sheilah aludde ng’saba Rickman okumusonyiwa omukwano gwabwe okuddamu.
Omu ku mikwano gya Rickman agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti Sheilah aludde ng’asindikira Rickman mesegi ku ssimu n’okukuba essimu ng’asaba omukwano okuddamu.
Rickman wadde ayagala nnyo Sheilah, kigambibwa naye abadde akooye ejjoogo lya Sheilah era mbu y’emu ku nsonga lwaki abadde akyagaanye okumuddiramu.
LABA LAAVU!
Mu kiro ekikeeseza lwaleero, Rickman alabiddwako ng’ali mu laavu ne Sheilah mu kivvulu ky’omuyimbi Oluwatobiloba Daniel Anidugbe amanyikiddwa nga Kizz Daniel mu kisaawe e Lugogo.
Kizz Daniel y’omu ku bayimbi abaliko mu kiseera kino mu Africa olw’oluyimba lwe Buga era ekivvulu kye e Lugogo kisombodde abadigize bangi ddala.
Rickman ne Sheilah, bebamu ku beetabye mu kivvulu, okulya ku bulamu.

Okusinzira ku musasi waffe, Rickman ne Sheilah obwedda bali mu laavu nga Sheilah musanyufu nnyo olwa Rickman okumuddiramu.
Sheilah okulaga nti musanyufu, obwedda akuba Rickman obwama, mu ngeri y’okulaga nti kati ebintu bizzeemu okutambula obulungi.
Okulaga nti ddala omusajja amulina era amwagala, vidiyo eraga nti Sheilah yabadde musanyufu nnyo okulaga nti kati awonye ennyonta ya waya.
Sheilah yetaaga Rickman nnyo!
Wadde Sheilah muwala alabika bulungi, yetaaga nnyo Rickman kuba abadde mukwano n’abasajja ab’enjawulo wabula kati anoonya omusajja ayinza okumutegeera.
Sheilah yali mu laavu ne Marcus Ali Lwanga Ssempija amanyikiddwa nga God’s Plan era bangi ku bannansi bali balowooza nti ddala ye musajja agenda okumwanjula.
Kigambibwa Sheilah yali mu mukwano ne God’s Plan olwa ssente era yamusuulawo nga ssente zimuweddeko.

Waliwo abagamba nti God’s Plan yali musajja mubbi era nga ssente yali yazifuna mu bubbi.
Sheilah oluvanyuma lw’okulya ssente nga God’s Plan azzeeyo mu kweyiiya mbu y’emu ku nsonga lwaki yamusuulawo.
Mu kiseera kino kati muwala musanyufu nnyo kuba kati Rickman yazzeemu okumuwa omukisa, okumwagala.
Vidiyo!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8cuFd7hR3Lk