Omukulembeze w’eggwanga erya Kenya, Uhuru Kenyatta, asambaze ebirudde nga biyitingana nti mu kulonda okugenda mu maaso mu ggwanga, aliko baali mu kutunka nabo, kw’abo abesimbyewo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga.
Mu Kenya, ebigambo birudde nga bitambula nti Kenyatta, tewali kubusabuusa kwonna, awagira Railo Odinga, okudda mu bigere bye, ng’omukulembeze w’eggwanga eryo owokutaano (5).
Wabula Kenyatta oluvanyuma lw’okulonda ku Mutoma Primary School e Gatundu South, asiimye akakiiko k’ebyokulonda, okutekateeka okulonda mu ngeri eyinza okuggyayo okulonda okw’amazima n’obwenkanya.
Mungeri y’emu akkubiriza bannansi, okuvaayo okulonda abakulembeze baabwe era wasinzidde okutegeeza nti mu kulonda kuno, talina muntu yenna gwavuganya.
Ate Railo Odinga nga ye alondedde ku ssomero lya Kibera Primary School ekadde mu Konsituwense ye Lang’ata e Nairobi, naye ayugumizza ekibuga enkya ya leero.
Odinga bw’abadde agenda okulonda, ayogeddeko ne bannamawulire makaage era yemulugunyiza ebyuma by’akakiiko k’ebyokulonda, okuba nga bikola kasoobo.
Mungeri y’emu, ajjukiza abaali bawakanya ekweyambisa enkalala z’abalonzi, nti n’abo basobodde okuzeyambisa okulonda oluvanyuma lw’okutuuka okulonda nga mu Kampyuta, amannya gaabwe tegaliimu.
Odinga, bw’abadde agenda okulonda, atambulidde mu luseregende lwa mmotoka ezisukka mu 10 wakati mu byokwerinda nga bakanyama, batambulira ku mmotoka ye nga n’abantu bangi ddala, abamutambulirako.
Ate ye William Ruto, olumaze okulonda mu bitundu bye Rift Valley, agumizza bannansi nti tewali kubusabuusa kwonna, agenda kuwangula okulonda kwa leero.
Ruto mu ngeri y’emu awanjagidde akakiiko k’ebyokulonda okuwa ekitiibwa okusalawo kw’abantu n’okwewala embeera yonna eyinza okutabangula okulonda.
Mungeri y’emu asabye bannansi, okuvaayo okulonda, okusalawo, ani agwanidde okubakulembera.
Okulonda kukyatambudde bulungi mu ggwanga lyonna nga bannansi balonda omukulembeze w’eggwanga, Bagavana 47, abakiise ba Palamenti ssaako n’abakulembeze ku maggoombolola.
Ebifo ebirondebwamu 46,229 era okulonda kusuubirwa okukomekereza ku ssaawa 11 ez’akawungeezi.
Ne bannansi abali mu nsi z’ebweru omuli America, Bungereza, Canada, Qatar, Germany, South Sudan, Uganda, Tanzania, Rwanda, Burundi ssaako ne South Africa, nabo bakedde kulonda.
Akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga erya Kenya, kalina ennaku 7, okwekeneenya omuwanguzi n’okulangirira.
Wabula Wafula Chebukati, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, agamba nti wadde balina ennaku 7, balina okulangirira omuwanguzi, amangu ddala nga bakomekereza okubala.
Mu kiseera kino ebitongole ebikuuma ddembe, tebinafuna kusoomozebwa kwonna ku nsonga y’ebyokwerinda.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=O3csbTC7YtI