Omukozi w’awaka abadde aleeta abasajja mu nju ya mukamaawe akigudde, kamera z’omu nju enkessi, zimugobezza.
Omukozi ng’ali mu myaka 25, abadde mukozi mu maka ga Kamya emyaka egisukka mu 8 era abadde mukozi mulungi ddala.
Awaka balina abaana 3 ng’omukulu ali mu S4 ate omuto, P4 era akawungeezi k’olunnaku Olw’okutaano, abaana bonna baakomawo awaka mu butongole.
Wabula ku Lwokutaano ku makya, omukozi ono ategerekeseeko erya Annet yaleeta omusajja mu nju ali mu myaka 30.
Omusajja yali ategeera kye bayita omukwano era mu ddiiro, yanywegedde Annet emirundi egy’enjawulo era amangu ddala, yasitudde omuwala namutwala mu ntebe, okudda mu kusinda omukwano.
Annet n’omulenzi, bazze mu kusinda omukwano okumala eddakika eziwerako.
Lwaki agobeddwa!
Wadde Annet abadde aleeta abasajja ab’enjawulo mu nnyumba, ku mulundi guno omulenzi gwe yaleese, abaddemu omuze gw’obubbi.
Oluvanyuma lw’okusinda omukwano, omusajja yatutte essaawa y’omusajja eyabadde mu ddiiro ku mmeeza.
Omusajja bwe yakomyewo awaka, yabadde alowooza mutabani we omukulu ali mu S4, yagirina.
Oluvanyuma lw’omulenzi okwegaana essaawa, omusajja yabadde alina okwekebejja mu kkamera, okuzuula essaawa ye kuba yabadde agirina ku Lwokuna ekiro.
Mu kwekebejja kkamera, yavudde mu kisenge nga munyivu nnyo.
Mu kkamera, omusajja yagudde ku vidiyo nga Annet abadde aleeta abasajja mu nnyumba ate ne badda mu kusinda omukwano mu ddiro, nga bamuteeka ku mmeeza, mu ntebe, kapeti emirundi egisukka 2 buli wiiki.
Ssemaka yavudde mu mbeera era yakubye Annet empi wadde abadde mukozi mulungi era amangu ddala yamulagidde okumuviira kuba ayinza okulaga abaana obuseegu.
Annet yakutte ebintu bye era yavudde mu ggeeti y’omugagga nga yenna aswadde kuba ssemaka yabadde alaga abatuuze vidiyo nga Annet ali mu kaboozi n’abasajja ab’enjawulo mu ddiiro.
Omu ku basajja muvuzi wa bodaboda!
Omu ku basajja mu vidiyo, musajja avuga bodaboda ku kyalo era amanyikiddwa nga Mutooro.
Mu vidiyo, Mutooro abadde asinda omukwano ne Annet wakati w’essaawa 4 – 6 ez’okumakya kuba mu ssaawa ezo, Ssemaka n’omukyala, babeera bagenze ku mirimu.
Bino byonna, byabadde Buziga mu Divizoni y’e Makindye olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku makya.
Annet yavudde mu ggeeti era yalinye bodaboda okweyongerayo nga kigambibwa yava Masaka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=I_InOAZ2s1I