Hawusigaalo aswalidde mu maaso ga ssentebe w’ekyalo, bw’akwattiddwa ku by’okubba empale za mukamaawe.

Akawungeezi k’olunnaku Olw’omukaaga, omukozi eyategerekeseeko erya Annet yagobeddwa ku mulimu oluvanyuma lw’okuzuula nti abadde aleeta abasajja ab’enjawulo mu nnyumba.

Hawusigaalo Annet wadde abadde aleeta abasajja mu nnyumba ya mukamaawe e Buziga mu Divizoni y’e Makindye, ku Lwokutaano ku makya, yaleeta mu nnyumba omu ku basajja nga mubbi.

Hawusigaalo Annet oluvanyuma lw’okusinda omukwano n’omusajja, bwe yali agenze mu kinabiro okunaaba, omusajja yabba essaawa ya ssemaka, ekyaleese obuzibu.

Ssemaka oluvanyuma lw’okunoonya essaawa nga tagiraba, yakebedde mu kkamera z’omu nju, kwe kuzuula nti omukozi w’awaka Annet, enju abadde yagifuula loogi.

Mu kkamera, vidiyo ziraga Annet ng’ali n’abasajja ab’enjawulo mu kaboozi mu ddiiro ly’omusajja nga bamuteeka ku mmeeza, kapeti, ntebe era ng’alaga nti anyumirwa omukwano.

Wadde yagobeddwa, ate aswadde nga bamututte ewa ssentebe w’ekyalo.

Lwaki aswadde!

Annet yagobeddwa mu kiseera ng’omukyala w’omu maka ali ku mulimu mu Kampala.

Kigambibwa omukyala alina edduuka mu Kikuubo era bwe yafunye essimu okuva eri bba, wadde alina emmotoka, yalinye bodaboda okudda awaka okwekeneenya embeera.

Okutuuka awaka, nga Annet asobodde okutwala ebintu eby’enjawulo eby’omu nju omuli engoye z’omukyala, empale z’omunda, ebyokwewunda omuli ebikomo n’ebintu ebirala.

Omukyala yalagidde bodaboda okunoonya Annet era baamukwatidde ku luguudo lwe Cape oludda e Munyonyo nga kigambibwa yabadde agenda wa muganzi we mu bitundu bye Salaama.

Annet yakwatiddwa, kwe kutwalibwa eri ssentebe w’ekyalo okwekebejjebwa ebintu by’alina mu nsawo.

Okwekebejja ensawo, omukyala yazudde ebintu bye omuli engoye, ebikomo ate empale ze ezisukka mu 10 nga Annet azambadde ssaako n’ebintu ebirala.

Wakati mu kusakaanya, Annet abantu bamwambuddemu engoye n’empale era wadde muk’omugagga yagaanye okuddamu okuzitwala, yaswadde mu bantu era yawonye emiggo gy’abatuuze.

Wadde yabadde akaaba, yasabye mukamaawe okumusonyiwa mbu sitaani yamukemye.

Abakyala bavudde mu mbeera!

Abakyala batabukidde Annet okubaswaza, okwenyigira mu kubba empale za mukamaawe.

Bano bagamba nti Annet abadde akola nsobi okutwala abasajja mu nnyumba ya mukamaawe ate n’okwenyigira mu kubba ebintu, kabonero akalaga nti ddala talina magezi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Xi3Jyqg1rHY