Wadde abakyala abalungi bali mu nsi yonna, olunnaku olwaleero, tukuleetedde ensi 10 mu Africa, ezisinga okubaamu abawala oba abakyala abalabika obulungi.
Somalia!
Okunoonyereza kulaga nti Somalia y’ensi mu Africa, esinga okuba n’abawala abalungi. Somalia nsi y’abasiraamu era abakyala bonna batambula bebikiridde.

Abakyala balabika bulungi, balina ffiiga ate agava e Somalia galaga nti abakyala balina empisa.
Wadde abakyala balabika bulungi, eggwanga likyalina obuzibu mu kulwanyisa obwavu.
Ethiopia!

Mu Africa, Ethiopia ekwata kyakubiri okuba n’abakyala abalungi. Abakyala basikiriza ate balina ffiiga ezisabbalaza bangi ku basajja.
Egypt!

Egypt nsi y’abasiraamu era bangi ku bakyala mu ggwanga eryo bategeera kye bayita eddiini. Mu Africa, y’emu ku nsi ezikutte akati okuba n’abakyala abalungi. Mu kiseera kino, okunoonyereza kulaga nti Egypt ekwata kyakusatu.
South Africa!

Abasajja bagamba nti South Africa, ddala nsi y’abakyala balungi. Bagamba singa otuuka mu South Africa abawala balabika bulungi ate balina emisaayi egy’enjawulo. Kigambibwa bangi ku bawala mulimu omusaayi gwa Abangereza ekyongedde okufuula abawala okulabika obulungi.
Ghana!
Mu Africa, Ghana ekwata kyakutaano okuba n’abakyala abalungi. Ghana erina abawala abalina ffeesi ezisikiriza buli musajja ssaako ne ffiiga.

Abawala mu Ghana, abasinga obungi bategeera kye bayita okunoonya ssente, okulya obulamu ate mbu bategeera kye bayita omukwano.
Cameroon!
Mu Africa, kati Cameroon ekwata kyamukaaga okusangibwamu abawala abalabika obulungi. Abawala abava mu Cameroon bategeera kye bayita okukyukakyuka n’obudde. Balina enviiri ezirabika obulungi ku mitwe, ffiiga ate bategeera omukwano n’okwaniriza abantu.

Wadde balabika bulungi, bategeera obuwangwa n’ennono mu nsi yaabwe.
Nigeria!
Wadde mu Nigeria, balina obuzibu bw’okulwanyisa abatujju ba Boko Haram, tekigaana bawala kulabika bulungi.
Singa omuntu yenna atuuka mu bibuga omuli Nigeria, Lagos, Abuja, Port Harcourt, abawala abalungi bajjudde ku ngundo omuli n’abo, abatunda ebintu ku nguudo.

Abawala mu Nigeria, balina kye bayita omutindo, ffiiga ate bategeera kye bayita okwekolako n’okunoonya ssente.
Tanzania!

Bangi ku bakyala mu ggwanga erya Tanzania baddugavu kyokka balabika bulungi nnyo.
Mu Africa, bategeera okulya obulamu ssaako ne ffiiga ezisabbalaza buli musajja.
Eswatini!
Bangi ku basajja mu Africa, bakyebuuza obulungi bw’abakyala abali mu Eswatini, emanyikiddwa nga Swaziland.

Swaziland etambulira nnyo ku buwangwa n’ennono era abakyala abasinga obungi, basangibwa nga bayambadde mu ngeri y’obuwangwa.
Kenya!
Mu Africa, Kenya ekwata kya 10 okuba n’abakyala n’abawala abalabika obulungi.

Bangi ku Bannalulungi mu Kenya bakyala baddugavu, bawanvu, balina ffiiga, bakozi ate bategeera okwaniriza abagenyi.
Bigiddwa ku Glusea.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q