Palamenti evuddeyo ku nsonga y’omwana Yassan Ssimbwa, eyafiiridde mu nsi ya Buwalabu mu ggwanga erya United Arab Emirates (UAE) ng’omulambo gukyali mu kibuga Dubai.

Okusinzira ku mubaka we Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso David Sserukenya, Ssimbwa yatwalibwa kkampuni ku kyeyo (erinnya lisirikiddwa) bwe yali asuubiziddwa okunoga obukadde bwe nsimbi nga n’okutwalibwa, yatunda ebintu byonna, okunoonya ssente ezimutwala.

Wabula okutuuka mu ggwanga lya United Arab Emirates nga Kampuni eyamutwala yamusuubiza mpewo, era yabonabona omuli okunoonya eky’okulya, omulimu, ow’okusula, okutuusa okwetta, sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 18, omwezi guno Ogwomunaana, 2022.

Sserukenya agamba nti Ssimbwa bwe yali adduka abasirikale baali balemeddeko okumukwata okumusiba olw’okuzuula nti yali mu UAE mu ngeri emenya amateeka, yava ku kizimbe waggulu era okutuuka wansi nga z’embuyaga ezikunta.

Thomas Tayebwa

Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa amyuka sipiika Thomas Tayebwa nga yonna esiriikiridde, omubaka Sserukenya alabudde nti bangi ku bannayuganda abali mu kibuga Dubai, mu ggwanga lya Saudi Arabia n’ensi endala, bali mu mbeera mbi, nga batwalibwayo Kampuni ez’enjawulo, nga basuubiziddwa emirimu gya bukadde bwa ssente.

Ebigambo bya Sserukenya

Mungeri y’emu awanjagidde Gavumenti, okuleeta amateeka amakambwe ku kkampuni ezitwala bannayuganda ku byeyo, okuzekeneenya nga tezinnaba kuweebwa layisinsi ssaako n’okuyamba famire ya Ssimbwa, okukomyawo omulambo gw’omwana waabwe, ogukyalemedde mu kibuga Dubia olw’embeera ya ssente mu famire.

Sseerukenya ng’asaba Palamenti

Ku lwa Gavumenti, Minisita w’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo asuubiza nti Gavumenti eri mu ntekateeka okuleeta amateeka, okulambika kkampuni zonna.

Mungeri y’emu agamba nti Gavumenti egenda kunoonya Kampuni eyatwala Ssimbwa ku kyeyo, okulaba nga bakomyawo omulambo gwa Ssimbwa ne famire okusasulwa ssente.

Minisita Mutuuzo era agamba nti waliwo Kampuni ezaawerebwa okutwala abavubuka mu nsi yonna nga tezirina bisanyizo kwe kusaba bannayuganda okuzewala.

Ebigambo bya Minisita Mutuuzo

Bangi ku bannayuganda batwaliddwa mu nsi ez’enjawulo okunoonya emirimu nga kivudde ku bbula ly’emirimu mu ggwanga lyaffe Uganda.

Kigambibwa, buli wiiki, kampuni zitwala abavubuka abasukka mu 500 nga basuubiziddwa emirimu mu nsi ez’enjawulo n’okusingira ddala mu ggwanga erya Saudi Arabia.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BHYrOZCWYns