Poliisi mu Kampala eriko abantu bekutte ku misango gy’okutigomya abantu mu Kampala nga benyigira mu kubba abantu omuli n’okuteeka emisanvu mu kkubo.

Abakwate bagiddwa mu bitundu bye Katale zone, St. Benedicto, Nsambya Kevina.

Poliisi egamba nti ababbi baludde nga banyaga abatuuze okuva ku ssaawa 11 ez’akawungeezi mu bitundu bye Nsambya, Calendar ku Hash Petrol Station n’ebitundu ebirala okuli Katwe Kinyoro, clock tower ne ku luguudo lwe Ntebbe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, mu kikwekweeto, Poliisi yakutte abantu 11 era bagiddwa mu bitundu okuli Katale zone ne Nsambya.

Ababbi 4 ku 11 Atuhaire Richard, Shukura Kabengana, Richard Tumwesigye ne Ahimbise John bazuuliddwa nga balina emmundu ekika kya Pisito.

Emmundu ebadde terina magazine era kigambibwa baludde nga bagyeyambisa okutisatiisa abantu mu kubba.

Abalala abakwate kuliko Muto Nyanga, Amanyire Latifu, Lubega Moses, Musobozi Clovis, Bisulu Emmanuel, Ankunda Bright ne Katongole Moses.

Mu bikwekweeto ebirala, ebitongole ebikuuma ddembe bikutte abantu abasukka mu 80 era ku misango gy’obubbi n’okusangibwa n’ebintu eby’enjawulo ebyeyambisibwa mu kubba.

16 bagiddwa ku City Square mu Kampala nga baludde nga benyigira mu kubba amassimu.

Mungeri y’emu Poliisi y’e Nansana ne Kawempe bakutte abasajja babiri (2) abaludde nga beyambisa Pikipiki okubba abatuuze nga bakuba abantu obutayimbwa, bulooka mu bitundu bye Nabweru.

Abakwate kuliko Lujja Jonathan nga mutuuze we Kyebando – Kabulengwa ne Kato James nga mutuuze we Kawempe Ku taano.

Enanga agamba nti abakwate bazuuliddwa nga balina Peeva nga bali ku Pikipiki namba UFQ 445L ekika kya Bajaj Boxer.

Omubbi omulala ategerekeseeko erya Mande nga mutuuze we Naluvule myu disitulikiti y’e Wakiso yadduse era mu kiseera kino Poliisi emunoonya ku misango gy’obubbi.

Poliisi era ezudde Pikipiki namba UEZ 664G ng’esuuliddwa mu bitundu bye Nansana West II “A” mu Monicipaali y’e Nansana.

Kigambibwa Pikipiki ebadde ekozesebwa ababbi okuli Patu myaka 25, mu kubba amassimu g’abatuuze n’okunyakula ensawo.

Patu yakubiddwa abatuuze okutuusa okufa ate banne kati baliira ku nsiko.

Enanga agamba nti Pikipiki etwaliddwa ku Poliisi y’e Nansana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q