Ssemaka ali mu myaka 30, aswadde mu maaso ga mukyala we, akwatiddwa lubona ng’ali mu kaboozi n’omukozi w’awaka.

Enkya ya leero, omuwala ali mu gy’obukulu 27 ategerekeseeko erya Julie akedde kusiibula muganzi we Fred okugenda ku mulimu.

Julie agamba nti Fred abadde mu kisenge nga yeebase era amutegeezezza nti wakugenda ku mulimu ku ssaawa 4.00 ez’oku makya.

Julie wakati mu kulukusa amaziga, agambye nti abadde yeerabidde ssente z’okusuubula ng’alina okudda awaka okuzikima.

Awunze!

Ng’omukyala omulala yenna, Julie agamba nti awunze olw’okusanga bba ng’ali mu kaboozi n’omukozi w’awaka.

Agamba nti yaleeta omukozi nga muwala mukulu ali mu myaka 19 kuba yali yetaaga omuntu, ayinza okulabirira obulungi abaana be okuli myaka 3 n’omuto myezi 5 kuba alina okunoonya ssente.

Julie agamba nti wadde omukozi abadde akola bulungi emirimu gye, abadde tasuubira nti ali mu laavu ne Fred.

Agenze okutuuka mu nnyumba, nga Fred awenjudde omukozi mu ntebe ali mu kaboozi era amangu ddala akutte mu ffeesi nga bw’asaba okumusonyiwa.

Omukozi agobeddwa!

Julie avudde mu mbeera, asobodde okukuba omukozi empi, ebikonde era amangu ddala amulagidde okupakinga ebintu bye amuviire.

Omukozi akutte ebintu bye era kigambibwa yava mu bitundu bye Mbale era avudde awaka wakati mu kuswala n’okusakaanya okuva mu batuuze.

Fred aswadde!

Ssemaka Fred aswadde mu maaso ga mukyala we n’abatuuze era wadde asabye omukyala okusonyiyibwa, abatuuze bamulangidde obwenzi.

Abatuuze bagamba nti kiswaza, omusajja okudda ku mukozi w’awaka kuba kityoboola ekitiibwa ky’omukyala.

Abamu bagamba nti Fred abadde alina eddembe okunoonya omukyala omulala ebbali okusinga okudda ku mukozi w’awaka.

Wakati mu kuswala, Fred asigadde mu kisenge ate Julie oluvanyuma lw’okugoba omukozi, asigadde mu ddiiro mu maziga.

Lwaki obwenzi bweyongedde!

Abamu ku batuuze bagamba nti abakyala okulemwa okuwa abasajja obudde mu nsonga z’omu kisenge, y’emu ku nsonga lwaki okuwankawanka kweyongedde.

Maama Jane omu ku batuuze, agamba nti omukyala yenna wadde yetaaga ssente okutambuza obulamu, alina okuwa omusajja omukwano, okumumalako ennyonta y’ekisenge.

Ate abakyala abalala bagamba nti omusajja nga bwenzi, alina okwenda wadde omukyala akoze buli kimu.

Embeera eno, ebadde Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q