Kyaddaki Poliisi ekutte maama ku misango gy’okutulugunya omwana we.

Olunnaku olw’eggulo, akatambi katambudde nnyo ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ku mukutu ogwa Face Book, WhatApp n’emirala nga waliwo omukyala ali ku mwana omuto ng’atulugunya.

Mu vidiyo, maama yakutte ekigatto era yakubye omwana omubiri gwonna ku mutwe, omugongo, akabina, emikono ssaako n’ebitundu ebirala.

Mu kunoonyereza, Poliisi ekutte maama Nabulime Dorothy myaka 22 omutuuze ku kyalo Busula A mu disituliukiti y’e Luweero.

Nabulime mukyala wa baana basatu (3) era yakwatiddwa ku by’okutulugunya omwana myaka 2.

Poliisi egamba nti Nabulime yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo Poliisi y’e Busula ku misango gy’okutulugunya omwana.

Omwana akwasiddwa aba famire okumulabirira ate olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 5, September, 2022, wakutwalibwa mu kkooti.

Omutuuze ayogedde!

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza erinnya lye agambye nti Nabulime abadde aludde nga yenyigira mu kutulugunya omwana.

Agamba nti ssentebe w’ekyalo abadde yasaba abatuuze okuyamba okunoonya obujjulizi ku Nabulime, okusobola okumutwala mu kkooti.

Omu ku batuuze yasobodde okuyamba abakulembeze ku kyalo ne Poliisi era yakutte vidiyo nga Nabulime ali ku mwana atulugunya.

Omu ku batuuze

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q