Obunkenke bweyongedde mu ggwanga erya Kenya ng’olunnaku olwaleero, kkooti ensukkulumu lw’egenda okuwa ensala yaayo.

Kinnajjukirwa nti Railo Odinga yaddukira mu kkooti ensukkulumu ng’awakanya obuwanguzi bwa William Ruto ku bukulembeze bw’eggwanga erya Kenya.

Mu kulonda kwa 9, August, 2022, Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Wafula Chebukati, yalangirira Ruto ng’omukulembeze we Kenya ow’okutaano (5) okudda mu bigere bya Uhuru Kenyatta.

Ebyava mu kulonda, Ruto yafuna obululu 7,176,141 nga bukola ebitundu 50.49 ku 100.

Odinga yamalira mu kyakubiri nga yafuna obululu 6,942,930 nga bukola ebitundu 48.5 ku 100.

Ruto ne Odinga ku lunnaku lw’okulonda nga 9, August, 2022

Abalala okuli George Wajackoyah yamalira mu kyakusatu obululu 61, 969 nga bukola obutundutundu 44 ku 100 ate David Mwaure yakwata kyakuna n’ obululu 31, 927 nga bukola obutundutundu 23 ku 100.

Wiiki ewedde, kkooti ensukkulumu ng’ekulembeddwamu Ssaabalamuzi Martha Koome myaka 62 yabadde ewuliriza bujjulizi obugeenda okwesigamwako mu nsala y’omusango.

Ssaabalamuzi yasuubiza nti olunnaku olwa leero, kkooti lw’egenda okuwa ensala yaabwe era webukeeredde enkya ya leero nga bannansi bonna mu ggwanga lya Kenya bali ku bunkenke.

Olunnaku olw’eggulo, Poliisi yavudde ku nsonga y’ebyokwerinda mu ggwanga erya Kenya.

Poliisi yasabye bannansi okusigala waka, okulinda ensala ya kkooti.

Ebyokwerinda e Kenya, oluvanyuma lw’okulonda nga 9, August, 2022

Akola ng’omuddumizi wa Poliisi e Kenya Noor Gabow mu kiwandiiko kye yafulumiza ku lunnaku Lwomukaaga, yalabudde bannansi okwewala enkungana nga n’enguudo zonna ezigenda ku kkooti ensukkulumu, zigenda kuggalwa.

Mungeri y’emu yasuubiza bannansi bonna ku nsonga y’ebyokwerinda, okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula emirembe.

Gabow agamba nti tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso ku nsonga y’ebyokwerinda.

Webukeeredde leero ku Mmande, nga Poliisi n’amaggye gasindikiddwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Nairobi, Kisumu n’ebitundu ebirala, okunyweza ensonga y’ebyokwerinda.

Olw’embeera eri mu Kenya yonna mu kiseera kino, abamu ku basuubuzi basigadde waka olw’okutya nti embeera eyinza okusajjuka.

Abamu ku bannansi bagamba nti Ruto ayinza okuwangula omusango kyokka waliwo abagamba nti singa awangula, Odinga n’abawagizi be, bayinza okubigaana ne basalawo okudda ku nguudo okwekalakaasa.

Ate abalala, bagamba nti okusazaamu obuwanguzi bwa Ruto era kiyinza okutabangula eggwanga.

Wabula bamu ku bannansi bagamba nti kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa Ruto, nga balina okuddamu okulonda, kiyinza okuyambako, okukakanya emitima gy’abantu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q