Poliisi mu Kampala ng’eri wamu n’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID bali mu kunoonyereza ku misango gy’okubba munnansi wa South Sudan Jacob Arok ebintu mu makaage e Kawuku, Bunga e Makindye mu kiro kya 28 – 29, August, 2022.
Okunoonyereza kulaga nti mu kiro kya 28-29, August, 2022 ekibinja ky’ababbi kyalumba amaka ga Arok ne bamenya enzigi oluvanyuma lw’okweyambisa kalifoomu okwebasa abantu bonna abaali mu nnyumba.
Ababbi benyigira mu kubba ebintu eby’enjawulo omuli ddoola 429,000, amassimu ga iPhone 4, kompyuta za Laptop ekika kya Apple 2, ebikomo bya zzaabu eby’enjawulo nga bya mukyala, ttiivi ya Flat Screen ekika kya Sumsung n’ebintu ebirala.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Poliisi yasobodde okweyambisa sigino z’essimu ekika kya iPhone emu kwezo ezabiddwa era yazuuliddwa mu bitundu bye Buwate mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.
Mu kubuuza abatuuze, Poliisi yafunye amawulire nti amaka ga Olimu Charles amanyikiddwa nga Sipapa.
Poliisi yafunye amawulire nti Sipapa ali mu bitundu bye Tororo, ng’awaka wasangiddwaawo mukyala we Nakiyimba Shamira.

Mu kwekebejja ennyumba, Poliisi yazudde ebintu eby’enjawulo ebyabibwa mu maka ga Arok omuli ddoola 70,000, amassimu ga Iphone 4, laptop 3,, ebikomo bya zzaabu.
Mungeri y’emu Poliisi yazudde ennamba z’emmotoka UBG 025B ne UBA 023U n’ebyuma by’emmotoka omuli amplifiers 2, sports vims 4, radiators 3 n’ebintu ebirala.
Enanga agamba nti Poliisi erina abantu 4 abakwattiddwa omuli ne mukyala wa Sipapa, Nakiyimba.
Mu kiseera kino Poliisi esabye bannayuganda okuyambibwa okunoonya Sipapa ku misango gy’obubbi.
Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti omuntu yenna ayinza okulemesa Poliisi okukwata Sipapa omuli bakanyama abamukuuma singa bagaana okumuwaayo, bali ku misango mu kiseera kino.
Poliisi eri mu kunoonya Sipapa ne banne, abenyigidde mu kubba munnansi wa Sudan Arok.
Wabula waliwo ebigambibwa nti Sipapa amaze okudduka mu ggwanga mbu addukidde mu kibuga Dubai.
VIDIYO!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OU7pvgYQUBI