Wakati mu kunoonyereza okuzuula abantu abatuufu abenyigidde mu kubba omugagga munnansi wa South Sudan Jacob Arok, bambega b’ekitongole ekya Poliisi bakunyizza Charles Olim amanyikiddwa nga Sipapa okumugyamu ebyama.
Sipapa yakwatibwa akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri ku misango gy’okubba ssente akawumbi kamu n’obukadde obusukka mu 650 n’ebintu ebirala omuli amassimu ga iPhone 4, kompyuta za Laptop ekika kya Apple 2, ebikomo bya zzaabu eby’enjawulo nga bya mukyala, ttiivi ya flat screen ekika kya Sumsung n’ebintu ebirala.
Ebintu byabibwa okuva mu maka ga Arok mu kiro kya 28 – 29, August, 2022 e Kawuku, Bunga e Makindye.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okunoonyereza kulaga nti mu kiro kya 28-29, August, 2022 ekibinja ky’ababbi kyalumba amaka ga Arok ne bamenya enzigi oluvanyuma lw’okweyambisa kalifoomu okwebasa abantu bonna abaali mu nnyumba ne batwala ebintu.
Poliisi yasobodde okweyambisa sigino z’essimu ekika kya iPhone emu kwezo ezabiddwa era yazuuliddwa mu bitundu bye Buwate mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.
Mu kubuuza abatuuze, Poliisi yafunye amawulire nti amaka ga Sipapa era y’emu ku nsonga lwaki yakwatiddwa.
Mu kwekebejja ennyumba, Poliisi yazudde ebintu eby’enjawulo ebyabibwa mu maka ga Arok omuli ddoola 70,000, amassimu ga Iphone 4, laptop 3, ebikomo bya zzaabu.
Mungeri y’emu Poliisi yazudde ennamba z’emmotoka UBG 025B ne UBA 023U n’ebyuma by’emmotoka omuli amplifiers 2, sports vims 4, radiators 3 n’ebintu ebirala.
Wabula mu sitetimenti gye yakoze ku Poliisi y’e Kabalagala ku Lwokubiri ne ku Lwokusatu, Sipapa yagambye nti waliwo abantu b’avuganya nabo mu mirimu, abalemeddeko okumusibisa.
Sipapa agamba nti abatamwagaliza balemeddeko okulaga nti mubbi.
Ku Poliisi, yagambye nti ye musajja alina ssente ze, alina akawunti za ddoola e’zenjawulo nga kuliko obukadde bwa ddoola obusukka 2 nga tewali ngeri yonna lwaki yenyigira mu kubba.
Ku ddoola 70,000 ezasangiddwa mu makaage, Sipapa yagambye nti talina kyazimanyiiko.
Agamba nti amawulire okufuluma nti Poliisi emunoonya, yabadde mu bitundu bye Tororo era singa yabadde mubbi, yabadde asobola okudduka mu ggwanga, okugenda mu ggwanga lya Kenya.
Sipapa agamba nti kituufu musajja mubbi wa zaabu era mbu abamu ku banene mu ggwanga bakimanyi bulungi nnyo.
Omusango guli fayiro namba SD:14/29/08/2022 era mu kiseera kino okunoonyereza kugenda mu maaso okulaba nti Sipapa bamutwala mu kkooti ku misango gy’obubbi.
Poliisi erina n’abantu abalala era ku misango gy’okubba ne Sipapa omuli ne mukyala we Nakiyimba Shamira.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q