Pasita aswadde mu maaso g’abatuuze, akwatiddwa lubona ng’ali mu kaboozi ne muk’omusajja.
Pasita (amannya gasirikiddwa) abadde mukwano gw’omukyala era kigambibwa bangi babadde balowooza amuyambako mu kutambuza emirimu gye kkanisa.
Omu ku batuuze mukwano gwa Pasita, agamba nti omukyala akubidde Pasita essimu nti tali mu mbeera nnungi, nga yetaaga essaala za Pasita.

Awonye emiggo


Pasita amangu ddala yakutte Bayibuli okugenda okusabira omukyala mukwano gwe.
Kigambibwa, Pasita ng’atuuse mu maka g’omukyala, yasangiddwa ali mu ddiiro mbu kwe kutegeeza Pasita nti bba abadde agenze ku mulimu.
Nga bali mu ddiiro, omukyala yakoze ebintu eby’enjawulo okusabbalaza Pasita okutuusa lwe yamututte mu kisenge okudda mu kusinda omukwano.

Wakati nga Pasita ali mu kwesa mpiki, yakwatiddwa lubona.
Mu Ghana, ebikolwa by’okukwata abasumba nga bali mu bikolwa by’okusinda omukwano byeyongedde n’okusingira ddala nga bali ne Bakabasajja.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q