Kyaddaki omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road Gladys Kamasanyu agobye omusango, ogubadde guvunaanibwa omubaka we Kawempe North Muhammad Ssegirinya.

Ssegirinya wadde ali ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango egy’ekuusa ku kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka 20, abadde ku misango gy’okukuma gy’okuma omuliro mu bantu.

Ssegirinya yakwatibwa nga 22, Ogwokusatu, 2021 ku Mini-Price mu Kampala bwe yali akutte ebipande, ng’asaba Gavumenti okuyimbula abasibe, abaali bakwatiddwa mu kiseera kya Kampeyini za 2021 okwali Kansala James Mubiru,  Eddi Mutwe, omuyimbi Ali Bukeni amanyikiddwa nga Nubian Li ssaako n’abalala, abaali bakwatiddwa mu disitulikiti y’e Kalangala mu bagenze mu Kampeyini.

Ssegirinya mu kkomera e Kigo

Mu kuwulira omusango, oludda oluwaabi lwaleeta abajjulizi 3 okuli omusirikale omunoonyereza Erias Kijjampora,  Flavia Musimenta nga yakulira Poliisi ku MiniPrice mu Kampala eyakwata Ssegirinya oluvanyuma natwalibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ssaako ne David Nahamya, ow’ebikwekweeto nga y’omu ku benyigira mu kukwata Ssegirinya.

Wabula enkya ya leero, omulamuzi Kamasanyu agobye omusango, nga kivudde ku ludda oluwaabi, okulemwa okuleeta obujjulizi okumatiza kkooti nti Ssegirinya okwekalakaasa,  alina abantu beyakumamu omuliro.

Omulamuzi Kamasanyu

Oluvudde mu kkooti, ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) David Lewis Rubongoya, agamba nti kiswaza abakulu mu gavumenti okuleeta ebisangosango n’ekigendererwa eky’okumalako abantu eddembe lyabwe.

Rubongoya awanjagidde ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulabula abantu be, okukomya okunyigiriza abantu nga berimbika mu mateeka.

Eddoboozi lya Ssegirinya

Ate maama wa Ssegirinya, Justine Nakajumba wakati mu ssanyu, atendereza kkooti, okugyako mutabani we Ssegirinya emisango.

Nakajumba, agamba nti mutabani we Ssegirinya si muzzi wa misango era balina essuubi n’okuwangula egimuvunaanibwa nti yatta abantu e Masaka.

Maama wa Ssegirinya, Justine Nakajumba

Omulamuzi mu kuwa ensala ye nga Ssegirinya asinzira mu kkomera e Kigo ku nkola ya ‘Zoomu’, abakyala bombi ab’omusibe Ssegirinya okuli Twahila Akandinda ne Nanfuka Fatuma, baakedde bukeezi.

Bano, bagamba nti ku lwa maanyi g’Omutonzi, Ssegirinya wakuva mu kkomera, okuddamu okutambuza amakaage kuba ennyonta y’ekisenge esukkiridde.

Abakyala bombi ku mukwano gwa bba

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=KWja4gcVVos