Essanyu libugaanye bannansi mu ggwanga erya Kenya, ku mikolo gy’okulayiza William Ruto ku bukulembeze bw’eggwanga lyabwe.

Ku ssaawa 6 n’eddakika 40, Ssaabalamuzi Martha Koome, ayanjulidde eggwanga William Ruto ng’omukulembeze we Kenya Ow’okutaano, eyalondebwa nga 9, omwezi oguwedde Ogwomunaana.

Ku mikolo, egibadde mu kisaawe kye Kasarani mu kibuga Nairobi, essanyu libugaanye bannansi, nga balagiddwa Ruto ng’omukulembeze waabwe.

Ku ssaawa 6 n’eddakika 45, William Ruto, alayiziddwa ng’omukulembeze w’eggwanga erya Kenya, okudda mu bigere bya Uhuru Kenyatta.

Okulayira, kukulembeddwamu omuwandiisi w’ekitongole ekiramuzi Anne Amadi mu maaso ga ssaabalamuzi Martha Koome.

Ruto alayidde enkya ya leero

William Ruto, olumaze okulayira, Ssaabalamuzi Koome amusizza ebinamuyamba okutambuza eggwanga omuli sseemateeka w’eggwanga wakati mu nduulu okuva mu bannansi.

Ku ssaawa 7:12, Kenyatta atandiise emikolo gy’okwasa Ruto obuyinza omuli ekitala ng’akabonero akalaga nti kati ye mukulembeze w’eggwanga erya Kenya era omuddumizi w’amaggye ow’okuntikko.

Emikolo gy’etabiddwako abantu abasukka mitwalo 6, abakungu abasukka 2,000 abakulembeze b’ensi 16 omuli Malawi, Uganda , Rwanda, Guinea-Bissau, Tanzania, Somalia n’ensi endala wakati mu byokwerinda.

Oluvanyuma lw’okwata obuyinza, William Ruto asuubiza bannansi okutumbula eby’obusuubuzi, ebyenjigiriza, eby’obulimi, okulwanyisa ebbula ly’emirimu, okulwanyisa obuli bw’enguzi, okutebenkeza ebyokwerinda,  okwongera amaanyi ekitongole ekiramuzi, okulongoosa enguudo, okutumbula enkolagana n’ensi endala, ekyongedde okukyamula bannansi.

Mungeri y’emu Ruto asuubiza okutambuza obukulembeze bwe, eri bannansi ba Kenya bonna, okusembeza buli muntu ku myaka gyonna ssaako n’abo, abaludde mu Gavumenti, okubasembeza ku lwa Kenya eyawamu.

Ruto asuubiza ebirungi eri bannansi

Mungeri y’emu Ruto awadde Kenyatta omulimu, agamba nti agenda kusigala ng’amuyambako mu nteseganya z’okuza emirembe mu ggwanga lya Ethiopia n’ebitundu bya Great Lakes ku lwa Gavumenti ya Kenya.

Ebigambo bya Ruto eri Kenyatta

Ku lw’abakulembeze b’ensi 16 abetabye ku mikolo gy’okulayira, Ruto awadde abakulembeze 3 bokka, omukisa okubuuza ku bannansi omuli owa Uganda, Tanzania ne Burundi.

Yoweri Kaguta Museveni, ye mukulembeze asoose, okwebaza bannansi ba Kenya, okulonda omukulembeze omugya era  William Ruto, amwogeddeko nga Taata wa East Africa.

Mu bigambo bye, Museveni awanjagidde abakulembeze ssaako ne bannansi, okusosowaza ensonga y’okulwanyisa obwavu nga bayita mu kuteeka amanyi mu by’obulimi, Tekinologye, okuzimba Hotero, okusinga okudda mu kulwanira eby’obugagga eby’omu ttaka.

Ebigambo bya Museveni eri bannansi mu East Africa

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4WABbjsCWA8