Mu kaboozi tewali muzannyo……

Mu nsi y’omukwano, abakyala bakola ebintu eby’enjawulo okulaga abasajja sigino ez’enjawulo mu biseera by’okusinda omukwano.

Sigino ezimu, ziyinza okuyamba omusajja okutegeera ekiddako mu kiseera ekituufu ate abamu ku basajja, bayinza okulemwa okusoma sigino, ekintu ekitabula abakyala.

Mu sigino z’abakyala, mwe muli okusimba amannyo mu kiseera ky’okusinda omukwano.

Lwaki omukyala ayinza okusimba amannyo!

Okunoonyereza kulaga nti ebintu bingi nnyo ebiyinza okuvaako omukyala oba omuwala yenna okusimba amannyo mu kiseera ky’omukwano.

Obulumi!

Omukyala ayinza okusimba amannyo singa afuna obulumi mu kiseera ky’okusinda omukwano. Okunoonyereza kulaga nti omukyala yenna singa afuna omusajja ategeera omukwano, alina okumutekateeka obulungi. Omukyala yenna singa afuna okwetekateeka okutuufu, asobola okumira buli muti nga tafunye wadde obulumi.

Okunoonyereza kulaga nti singa omukyala afuna omusajja ng’alina amaddu mu nsonga z’omu kisenge, ayinza okulemwa okutekateeka omukyala, ekivaako obulumi wakati mu kaboozi, era aba alina okusimba amannyo, okulaga omusajja sigino nti ali mu bulimi.

Okunyumirwa Akaboozi!

Ebintu bingi nnyo, ebiyinza okuvaako omukyala yenna okunyumirwa akaboozi singa afuna omusajja ategeera omukwano. Okunoonyereza kulaga nti abamu ku bakyala bayinza okusimba amannyo mu kiseera ky’okutuuka ku ntikko.

Buli mukyala alina enneyisa bw’aba asemberedde okutuuka ku ntikko era ezimu ku nneyisa, mwe muli okusimba amannyo. Abasajja abamu, singa balaba omukyala ng’asemberedde okusimba amannyo, afuna sigino nti essaawa yonna omukyala omuzannyo aguvaamu.

Okumira waya mu kyama!

Olw’embeera eri mu nsi, waliwo abantu nga balina okunyumya akaboozi kyokka nga era waliwo abantu abayinza okubawulira nti bali mu kikolwa. Bano mwe muli abali mu kupangisa emizigo nga balina famire.

Wadde omusajja alina abaana mu nnyumba, singa batuuka mu kiseera ky’okusinda omukwano n’omukyala, kiba kizibu omukyala okweyambisa amaloboozi okunyumisa omuzannyo. Olw’okutangira abaana okutegeera ekigenda mu maaso, abakyala bangi balina kusimba mannyo mu kiseera ky’omukwano, okulaga bba nti aguwulira gumutuuse, okwongera okuwa omusajja amaanyi.

Omusajja oba omukyala okulaga nti ategeera omukwano, alina okusoma sigino kuba ziyambako okuwuliziganya wakati mu kikolwa era kiwa nnyo abakyala essanyu singa afuna omuntu amutegeera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4WABbjsCWA8