Owa bodaboda eyasuula omusabaze mipiira gya Tuleera, aziddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 13, omwezi ogujja Ogwekkumi guno omwaka 2022.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 29, omwezi oguwedde Ogwomunaana, guno omwaka 2022 ku ssaawa nga 8 ez’emisana, wali ku Jinja Road, owa boda Fred Ganyana, bwe yali agezaako okuyisa Tuleera, yakoona ku mmotoka era omusaabaze nga yali omukyala naagwa mipiira gyaayo.

Abatuuze okwekeneenya ng’omukyala alinyiddwa era ng’amaze okufa.

Mu maaso g’omulamuzi Sanula Namboozo wali ku Buganda Road, omu ku bajjulizi nga musirikale wa Tulafiki Kaweesa Patrick, agambye nti Ganyana, yali adduka nnyo era amangu ddala ng’amaze okola akabenje n’okuvirako omukyala okufa, yaddukirawo.

Mu kkooti ebadde esirikidde, owa bodaboda Ganyana yegaanye emisango gyonna era agambye nti okudduka, yali agezaako kuyimiriza wa Tuleera ku misango gy’okutta omuntu.

Ganyana agamba nti Tuleera yagigoba okutuuka e Kibuli era yagenda okudda mu kifo, ekyabaddemu akabenje nga Pikipiki etwaliddwa abasirikale, ku kitebe kya Poliisi mu Kampala era gye yagisanga.

Oludda oluwaabi, lusabye kkooti okwongezaayo omusango era basuubiza okwongera okunoonyereza n’okuleeta abajjulizi.

Ganyana, aziddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 13, omwezi ogujja Ogwekkumi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d1ZGJhiikZE&t=69s