Poliisi y’e Mukono ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okutta omwana Betty Kizza Nanfuka myaka 15 abadde mu kibiina eky’omusanvu (P7) ku St. Andrew Kaggwa primary school e Nama.

Abakwate kuliko Martin Nvuyukule ne Mikaire Oriema nga bonna batuuze ku kyalo Kiswa.

Omwana eyattiddwa wa Josephine Nassozi ne Bernard Kityo, abatuuze ku kyalo Kituba.

Abazadde batwala omusango ku Poliisi y’e Nama nga 16, September, 2022 ku by’omwana Nanfuka okubuzibwawo.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 17, September, 2022, omulambo gwa Nanfuka gwazuuliddwa mu nsiko ku kyalo Kituba.

Mu kunoonyereza, abasirikale bakutte abasajja 2 abagambibwa nti benyigidde mu kutta omwana Nanfuka.

Luke Oweyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti abakwate batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mukono ku misango gy’okutta omuntu.

Oweyesigyire agamba nti abasirikale baabwe okweyambisa embwa ezikonga olussu, y’emu ku nsonga lwakin Martin Nvuyukule ne Mikaire Oriema bakwate mu kiseera kino.

Mu kwekebejja omulambo, kyazuuliddwa nti omwana yasobezebwako, oluvanyuma kwe kuttibwa.

Omulambo gw’omwana gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okwekebejjebwa.

Ate maama w’omwana Nassozi awanjagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza, okuzuula lwaki omwana we yattiddwa kuba kati yetaaga obwenkanya.

Mungeri y’emu ne ssentebe w’ekyalo Kiswa Benon Sseryazi naye agamba nti okutta omwana omuto, kyongedde okutabula bangi ku batuuze.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q