Kkooti esookerwako e Makindye ezzeemu okusindika Olim Charles amanyikiddwa nga Sipapa ku limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 10, omwezi ogujja Ogwekkumi guno omwaka 2022.

Sipapa ne mukyala we Nakiyimba Shamirah  bali ku misango 6 omuli okubbisa eryannyi, nga kigambibwa y’omu ku bakkondo, abenyigira mu kumenya enju y’omugagga munnansi wa South Sudan Jacob Arok, omwezi Ogwomusanvu, e Kawuku, Bunga mu bitundu bye Makindye ne batwala ebintu eby’enjawulo.

Mu bintu ebyatwalibwa mwe muli ssente Biriyoni emu n’obukadde 600 n’okusoba, amassimu ga iPhone 4, kompyuta za Laptop ekika kya Apple 2,  ebikomo bya zzaabu eby’enjawulo nga bya mukyala, ttiivi ya Flat Screen ekika kya Sumsung n’ebintu ebirala.

Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Hope Lukundo, basobodde okutegeeza omulamuzi Esther Adikini nti bakyanoonyereza, ekiwaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango okutuusa nga 10, omwezi ogujja, Ogwekkumi.

Mungeri y’emu omulamuzi Adikini asuubiza okuwa ensala ye ku kusaba kwa bannamateeka ba Sipapa ku by’okuyimbula omukyala Nakiyimba addeyo, ayonse omwana gwe yali yakazaala.

Munnamateeka Robert Rutaro agamba nti omukyala Nakiyimba alina olukindo lwe yafuna mu kiseera ky’okuzaala omwana we, emyezi etaano (5) emabega.

Rutaro era agamba nti Nakiyimba ali mu maziga, amabeere gamuluma kuba tayonsa ng’asaba kkooti ayimbulwe, asobole okuddayo okulabirira omwana we.

Eddoboozi lya Rutaro

Wakati mu kunoonyereza abenyigira mu kubba omugagga Arok, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye era byakutte Nyazaala wa Sipapa, maama amuzaalira omukyala Nakiyimba, ayambeko mu kunoonyereza.

Munnamateeka Rutaro agamba nti Nyazaala ali ku Poliisi e Kabalagala mu kiseera kino, ekyongedde okubatabula nga betaaga okutegeera lwaki maama yakwattiddwa.

Mungeri y’emu agamba nti maama okukwattibwa abadde alabirira omwana, kyongera okutyoboola eddembe ly’omwana.

Rutaro ku nsonga za maama

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4WABbjsCWA8