Kyaddaki ebipya byongedde okuzuuka ku mugagga munnansi wa South Sudan Jacob Arok eyabiddwako US$429,000 n’ebintu ebirala.

Ebitongole ebikuuma ddembe nga bikulembeddwamu ekitongole ekya Poliisi byakutte Charles Olim amanyikiddwa nga Sipapa ku misango gy’okulemberamu okubba Arok.

Kigambibwa Sipapa y’omu ku bakkondo, abenyigira mu kumenya ennyumba ya Arok mu kiro kya 28 – 29, mu Gwomusanvu, e Kawuku, Bunga mu bitundu bye Makindye ne batwala ebintu eby’enjawulo.

Okunoonyereza kulaga nti Sipapa ne banne batwala ebintu omuli ssente Biriyoni emu n’obukadde 600 n’okusoba, amassimu ga iPhone 4, kompyuta za Laptop ekika kya Apple 2,  ebikomo bya zzaabu eby’enjawulo nga bya mukyala, ttiivi ya Flat Screen ekika kya Sumsung n’ebintu ebirala.

Sipapa kati musibe

Poliisi egamba nti baasobola okweyambisa Kalifoomu, okumenya okutwala ebintu ebyo.

Omwezi oguwedde, Sipapa yaguddwako emisango gy’okubbisa eryannyi nga beyambisa ebiragalaragala omuli Kalifoomu.

Sipapa ne mukyala we Nakiyimba Shamirah, omwezi oguwedde Ogwomunaana, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Makindye Patience Tukundane era bonna bali ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 19, omwezi guno Ogwomwenda, 2022.

Munnamateeka wa Sipapa, Abed Nassar Mundyobole agamba nti empalana n’eby’obufuzi y’emu ku nsonga lwaki Sipapa yakwatiddwa naye si musajja mubbi. Agamba bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga basaba kkooti abantu baabwe okweyimirirwa.

Munnamateeka Mundyobole era agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe, tebirina bujjulizi bulaga nti ddala Sipapa yenyigira mu kubba Arok.

Mundyobole era agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe birina okunoonyereza lwaki Arok yali ateeka ssente wansi w’ekitanda eziri mu Biriyoni.

Agambibwa okubibwako ssente

Mu kunoonyereza, Poliisi yazuula ddoola 70,000, amassimu ga iPhone 4, laptop 3, ebikomo bya zzaabu, ennamba z’emmotoka ez’enjawulo n’ebintu ebirala mu maka ga Sipapa ku kyalo Buwate mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.

Wabula okunoonyereza kulaga nti Arok ye manejja akola ku ssente z’akasiimo ez’abakozi mu South Sudan. Kigambibwa Arok abadde yakafuna omulimu ogwo.

Arok ne mikwano gye

Omu ku basirikale agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agamba nti Gavumenti ya South Sudan evuddeyo okusaba Arok okunyonyola ku makkubo ga ssente.

Kigambibwa, Arok yabadde yakatunda ebimu ku bintu bye mu South Sudan, okusobola okusiga ssente mu Uganda era yabadde mu ntekateeka.
Ate Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti okunoonyereza kulaga Sipapa y’omu ku babbi abaludde nga batigomya abantu mu bitundu okuli Ntinda, Kiwatule, Kyanja, Kabalagala ne Kisaasi okuva mu 2014.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q