Lukwago alemeddeko!

Bannamateeka babasibe abaakwatibwa mu kitta bantu ekyali e Masaka, bakalambidde ku ky’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Bilivumbuka, okubakkiriza okuzibira abantu abalina obujjulizi ku by’okutta abantu.

Bilivumbuka, agamba nti balina abajjulizi naye nga batya, okulabika eri abantu, ng’asaba kkooti ebakkirize, abajjulizi okuwa obujjulizi nga bali mu kyama, nga tewali kulagibwa eri muntu yenna.

Mu kkooti enkulu mu Kampala ewuliriza emisango gya bakalintalo, ebadde ekubirizibwa omulamuzi Alice Komuhangi, bannamateeka babasibe Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West, Muhammad Ssegirinya ow’e Kawempe North n’abalala, nga bakulembeddwamu omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, balemeddeko, ng’abajjulizi balina okugya mu kkooti.

Ssewanyana ne Ssegirinya mu kkooti

Omulamuzi Komuhangi, asuubiza okuwa ensala ye, sabiiti ejja ku Mmande nga 26, omwezi guno Ogwomwenda, 2022.

Eddoboozi lya Lukwago

Ensonga endala okuli okusika omuguwa, kuliko oludda oluwaabi, okuwaayo obujjulizi bwonna obuneesigamwako mu kutambuza omusango era kkooti yakuwa ensala yaayo nga 10, omwezi ogujja Ogwekkumi ssaako n’ensonga y’okugata emisango gyonna, okuva mu kkooti enkulu e Masaka okudda mu kkooti enkulu mu Kampala kuba gyonna gifanagana, ng’omulamuzi Komuhangi era esuubiza okuwa ensala yaayo nga 28, era omwezi ogujja Ogwekkumi.

Ekibadde mu kkooti

Ssegirinya ne Ssegirinya bukya bakwatibwa, bakulungudde ku limanda mu kkomera e Kigo, ebbanga erisukka mwaka omulamba.

Kigambibwa, benyigira mu kutta abantu abasukka 20, wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, mu bijjambiya ebyali e Masaka.

Mu kiseera kino, enjjuyi zonna ziri mu kukaanya ebigenda okwesigamwako mu kiseera eky’okuwuliriza omusango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IhOrhMFuZb8