Kkomera..
Omunoonyereza ku misango egivunaanibwa bannakibiina ki National Unity Platform-NUP 32, awanjagidde kkooti y’amaggye e Makindye, obutagezaako wadde kubayimbula.
Banna NUP, bali ku misango gy’okusangibwa n’ebintu ebibwatuka era bukya bakwatibwa, mu Gwomukaaga, 2021 bali ku limanda mu kkomera e Kitalya.
Wabula mu maaso ga ssentebe wa kkooti Bri. Gen Robert Freeman Mugabe, omunoonyereza Lt Elly Musinguzi agambye nti abakwate singa bayimbulwa, bayinza okutataaganya okunoonyereza.
Mungeri y’emu Lt. Musinguzi agambye nti bayinza obutadda mu kkooti singa bayimbulwa nga bangi ku bbo tebalina maka.
Lt. Musinguzi anokoddeyo eky’omusibe Olivia Lutaaya eyayimbulwa gye buvuddeko ku misango gy’okusangibwa n’eby’okulwanyisa omuli amasasi mu ngeri emenya amateeka kyokka ne baddamu ne bamukwata nga ne mu kkooti, yagaana okuddayo, kwe kusaba kkooti, obutayimbula musibe yenna wabula okulinda emisango, okutuusa nga giwuliddwa.

Abakwate, kigambibwa emisango baagiza wakati wa November 2020 ne May 2021 mu bitundu bye Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Natete ne mu kibuga Kampala nga baasangibwa n’ebintu 13 ebibwatuka.
Wabula bannamateeka babasibe nga bakulembeddwamu George Musisi, agamba nti eky’okusiba abantu ebbanga erisukka mwaka omulamba ng’emisango gitambula kasoobo, kityoboola eddembe lyabwe.
Mungeri y’emu agamba nti kkooti yokka yeerina obuyinza okusalawo ku ky’okuyimbula abasibe oba nedda wabula si ludda luwaabi kuba kiri mateeka omuntu yenna okusaba okweyimirirwa.
Abasibe, baziddwa ku limanda okutuusa nga 11, omwezi ogujja Ogwekkuni, guno omwaka 2022, ekyongedde okunyika emitima gyabwe era abamu, kabuze kata okulukusa ku maziga.

Abasibe abali ku limanda kuliko Yasin Ssekitoleko amanyikiddwa nga Machete, Robert Christopher Rugumayo, Ronald Mayiga, Muhydin Kakooza, Patrick Mwase, Simon Kijambo, Abdu Matovu, Richard Nyombi, Olivia Lutaaya, Ronald Kijambo, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Mesach Kiwanuka, Abdalla Kintu, Umar Emma Kato ne Musa Kavuma.
Abalala kuliko Ibrahim Wandera, Asbert Nagwere, Steven Musakulu, Jimmy Galukande, Paul Muwanguzi, Kenneth Kamanya, Sharif Matovu, Shafiq Ngobi, Davis Mafabi, Abdallah Hakim Gibusiwa, Livingstone Katushabe Kigozi, Swaibu Katabi, Obalai Siraji Mudebo, Joseph Muganza ne Stanley Lwanga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q