Omuvubuka nga muyimbi amanyikiddwa nga Aybrah alaze nti ddala musajja ategeera kye bayita omukwano.
Aybrah kati amanyikiddwa olw’ennyimba ze omuli Akageri, Binkolere, Empewo, Abaawo, Bad Manners, Ntyamu, Ompaako, Mboona n’endala era y’omu ku bayimbi abato, abaliko mu kiseera kino.

Wadde y’omu ku bavubuka abato abalina ennyimba z’omukwano, ate alaze nti ddala n’omukwano y’omu ku baliko.
Mu vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta abantu n’okusingira ddala ogwa WhatsApp, Aybrah alaze kye bayita laavu ensi yonna.

Kye bayita laavu

Mu vidiyo, omuwala alaga nti ddala alina sikiiru y’okunyeenya ekiwato singa atuuka mu kusinda omukwano.
Wadde vidiyo yakwatiddwa omuvubuka, okulaga ensi nti kati ali mu laavu, yanywegedde omuwala wakati mu ssanyu, okulaga nti ddala bali mu laavu.

Laba omukwano

Aybrah okukwata vidiyo wakati mu kikolwa, kabonero akalaga nti ddala yakoowa abawala abaludde nga balya ssente ze, kati alabika yafunye omuwala omutuufu ku mutima gwe.

VIDIYO!