Kyaddaki Poliisi ekutte omusomesa ku misango gy’okudda mu kusinda omukwano n’omu ku bayizi be ku ssomero.

Omusomesa kigambibwa y’omu ku baludde ku ssomero lya SHS mu ggwanga erya South Africa.

Yali yadduka oluvanyuma lw’akatambi okufuluma nga yali mu kibiina n’omu ku bayizi wakati mu kusinda omukwano.

Ng’ali n’omuyizi mu kikolwa

Mu katambi, yategeera nti akola nsobi era y’emu ku nsonga lwaki, yali mu kaboozi n’omuyizi nga bonna bali mu ngoye.

Oluvanyuma lw’akatambi okufuluma, Omusomesa (amannya gasirikiddwa) yadduka era abadde aliira ku nsiko.

Kigambibwa, yali mu kaboozi n’omuyizi mu Janwali, 2021 era okuva olwo, abadde anoonyezebwa.

Nga bali mu kikolwa

Kyaddaki akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku muyizi era essaawa yonna bamutwala mu kkooti newankubadde waliwo abagamba nti omuwala yali mukulu.

Wabula abamu ku bazadde mu ggwanga erya South Africa, bawanjagidde ekitongole ekiramuzi nti omusomesa balina okumugyako layisinsi y’obusomesa, okuba eky’okulabirako eri abasomesa abalala mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Bzv_ZGbThRQ