Kyaddaki ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, bikutte Kabuye Darren amanyikiddwa nga Mukisa Henry abadde akulembera akabinja k’ababbi aka Kigaali, abaludde nga batigomya abantu mu Kampala.
Aba kigaali, baludde nga basuula emisanvu mu kkubo ne banyaga abantu n’okusingira ddala abasuubuzi, nga beyambisa obukodyo obw’enjawulo omuli n’okubba, Peeva abantu ku mitwe ne batwala amassimu, ensawo z’abakyala, okusala ensawo n’ebintu ebirala n’okusingira ddala mu bitundu bye Kawempe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Mukisa Henry asobodde okulaga ebitongole ebikuuma ddembe, abamu ku banne, webakolagana mu kutigomya abantu, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.
Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru mu Kampala, agamba nti okunoonyereza, kulaga nti aba kigaali bebenyigira mu kulumbagana, akulira ebyokwerinda e Kyebando Kansule Ben mu gwokusatu, guno omwaka 2022 nga baagala okumusanyawo.
Mu kiseera kino Poliisi, etandiise okunoonya ababbi bonna abaludde nga bakolagana ne Mukisa Henry okutigomya abantu, okulaba nga batwalibwa mu kkooti ku misango egy’anjawulo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q