Kkooti enkulu mu Kampala ewozesa emisango gya bakalintalo, egobye okusaba kwa Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana, kwe bateekayo ng’asaba emisango gy’obutemu, egiri mu kkooti enkulu e Masaka, gigatibwe kwegyo egiri mu kkooti enkulu mu Kampala.

Mu maaso g’omulamuzi Alice Kyomuhangi, okusaba kwabwe gugobeddwa era kusuuliddwa mu kasero.

Mu kkooti ebadde ekubyeko aba famire ssaako ne mikwano gy’abasibe, omulamuzi Kyomuhangi agambye nti fayiro z’emisango ziriko abantu ab’enjawulo nga tebasobola kuzigatta.

Wadde emisango gyonna gyekuusa ku kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka mu 20, omulamuzi Kyomuhangi agaanye okuyita fayiro okuva mu kkooti enkulu e Masaka ekwata ku by’okutta Joseph Bwanika nga 2, Ogwomunaana, 2021 eyali omutuuze ku kyalo Kisseka B mu ggoombolola y’e Kisseka mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ensala y’omulamuzi Kyomuhangi eyongedde okalubya entambuza y’emisango era bannamateeka babasibe, balina ekirowoozo okuddukira mu kkooti, okujjulira.

Munnamateeka Malende Shamim era omubaka omukyala owa Kampala, ayogeddeko n’omusasi waffe Nakaayi Rashidah era agamba nti okuba n’omusango mu kkooti enkulu e Masaka ku misango gye gimu egiri mu kkooti enkulu mu Kampala, kigenda kutaataganya entambuza y’emisango n’okuwa amaanyi ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, okwongera amaanyi nga bakwata abantu abali ku misango egimu ne batwalibwa mu kkooti ez’enjawulo.

Nakaayi Rashidah n’omubakam Malende ku nsonga za kkooti

Ssegirinya nga yalondebwa ng’omubaka we Kawempe North ne Ssewanyana ng’omubaka we Makindye West era nga bonna bannakibiina ki National Unity Platform – NUP, bukya bakwatibwa bakulungudde ku limanda mu kkomera e Kigo, ebbanga erisukka omwaka omulamba.

Bano, bali ku misango gy’obutujju, obutemu, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okugezaako okutta abantu ssaako n’emisango emirala.

Ssegirinya ne Ssewanyana baziddwa ku limanda wakati mu by’okwerinda nga n’emikono giri ku mpingu.

Wabula nga 10, omwezi ogujja Ogwekkumi, guno omwaka 2022 omulamuzi y’omu Kyomuhangi lw’agenda okuwa ensala ye, ku ky’okusaba kwa bannamateeka ba Ssegirinya ne Ssewanyana, oludda oluwaabi okuleeta obujjulizi bwonna, obugenda okweyambisibwa mu kiseera eky’okuwulira emisango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q