Omukyala yenna…

Mu nsi y’omukwano, akaboozi akalungi y’emu ku mpagi eziyamba okuyimirizaawo omukwano.

Wadde waliwo abakyala abagamba nti ssente kikulu nnyo mu laavu, balina ensonga kuba ssente ziyamba nnyo obulamu okutambula obulungi wakati mu laavu.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti obwenzi bweyongedde mu baagalana nga kivudde ku bantu okulowooza ennyo ku ssente ne balemwa okusanyusa banaabwe mu nsonga z’omu kisenge.

Ssenga Kawomera agamba nti akaboozi akalungi, kyongera essanyu mu baagalana ssaako n’okuyambako mu kulwanyisa endwadde omuli Puleesa, ez’emitima, kkansa ssaako n’endwadde endala.

Waliwo engeri satu (3) eziyamba buli mukyala yenna okunyumirwa akaboozi n’okutuuka obulungi ku ntikko.

1 – Okuwa omukyala akadde akamala mu kikolwa.

Abakyala bonna okufuna essanyu mu kaboozi, balina okutuuka ku ntikko. Okunoonyereza kulaga nti singa omukyala omuteekateeka obulungi, kigenda kumutwalira eddakika 15 – 25 okutuuka ku ntikko.

Omusajja yenna okufuna ekitiibwa okuva eri omukyala, alina okumuwa essanyu ly’omu kisenge. Omukyala okutuuka ku ntikko, kabonero akalaga nti ddala omusajja alina ‘work’ era kyongera okuleeta essanyu. Okunoonyereza kulaga nti omusajja yenna singa ayimuka, asobola okutuusa omukyala yenna ku ntikko, obunene n’obuwanvu bwa waya si kikulu.

2 – Muwe essanyu!

Okunoonyereza kulaga nti abakyala banyumirwa nnyo omusajja ng’alina waya ennene. Abakyala bagamba waya ennene enyumisa omuzannyo era y’emu ku nsonga lwaki abamu bayinza okukola obwenzi, naye nga banoonya basajja abalina waya ennene.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti abamu ku basajja abalina waya ennene ate batono nnyo abayinza okuwangala mu kazannyo. Alabudde abakyala nti buli musajja wadde alina waya ntono, asobola okunyumisa omuzannyo singa afuna omukyala amutegeera obulungi. Ebintu by’omu kisenge bya kuyambagana, omusajja alina okuyamba omukyala ate n’omukyala alina okuyamba omusajja kuba tewali kafulu alina bbaluwa mu nsonga z’akaboozi.

Ssenga Kawomera agamba nti okuwuliziganya wakati mu kikolwa, kiyamba nnyo akaboozi okutambula obulungi n’okukuuma essanyu mu baagalana.

3 – Okuwaana n’okusiima.

Mu nsi y’omukwano, abasajja bangi bakola bulungi ku nsonga y’okuwaana abakyala mu kikolwa kyokka batono nnyo, abasiima abakyala.

Mu kaboozi, abakyala bakola bulungi nnyo singa afuna omusajja ategeera okuwaana n’okusiima ebisoko mu kikolwa.

Omuntu singa asiimibwa, kyongera okumuwa emirembe n’okulaga nti ddala omusajja ategeera kyen bayita omukwano.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q