Omuyizi wa Uganda Management Institute- Mbale akubiddwa amasasi abantu abagambibwa okuba ababbi ku kyalo Toror hills mu ggoombolola y’e Panyangara ku luguudo lwe Kotido – Moroto.

Omuyizi attiddwa mu bukambwe ye William Lopeyok myaka 35 nga mutuuze mu disitulikiti y’e Kotido ng’abadde asoma Dipuloma mu project planning and management.

Omulambo gwa Lopeyok gw’azuuliddwa mu kitaba ky’omusaayi ku Lwokutaano.

Mukwano gw’omugenzi Emmanuel Okeng agamba nti Lopeyok yattiddwa ku Lwokutaano akawungeezi bwe yabadde addayo ku ssomero okwetegekera okusoma kw’akawungeezi.

Agamba nti omugenzi yabadde ku Pikipiki okuva e Kotido okudda mu disitulikiti y’e Moroto gye yabadde asuubira okulinya bbaasi ekyembi yattiddwa mu kkubo.

Okeng agamba nti yafunye ssimu nti bazudde omulambo gw’omusajja mu kitaba ky’omusaayi, okutuuka nga mukwano gwe, kwe kusaba Poliisi okunoonya okuzuula abatemu.

Micheal Longole, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Moroto agumiza abatuuze ku nsonga y’ebyokwerinda era agamba nti okunoonya abatemu kutandikiddewo.

Longole agamba nti omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu erya Kotido Health Centre IV okwekebejjebwa. Poliisi egamba nti ensonga lwaki Lopeyok yattiddwa, temanyiddwa mu kiseera kino.

Mungeri y’emu asuubiza nti ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, bitandiise okunoonya abatemu.

Ate Poliisi y’e Kapchorwa eri mu kunoonya abatemu abenyigidde ku by’okutta omukyala omukadde myaka 83 mu Mt Elgon National park.

Fredmark Chesang, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sipi agamba nti omukyala Kokop Sanaya myaka 83 abadde mutuuze ku kyalo Litei Cell mu ggoombolola y’e West division mu Monicipaali y’e Kapchorwa, ku Lwokutaano ku makya, yayingidde ekibira okukyaba enku, kyokka teyakomyewo era amangu ddala mutabani we Mzee Chesiy yatandikiddewo okunoonya.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 8 ez’emisana, Chesiy yazudde omulambo gwa Sanaya mu kitaba ky’omusaayi nga yasaliddwa mu bulago.

Chesiy yakubye enduulu eyasombodde abatuuze era amangu ddala, Poliisi yayitiddwa.

Ekitebe kya Poliisi e Kapchorwa kitandiise okunoonyereza era omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kapchorwa okwekebejjebwa.

Ate Francis Chemutai, nga naye mutabani w’omugenzi agamba nti nnyina tabadde na mpalana na muntu yenna, nga yebuuza lwaki yattiddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Bzv_ZGbThRQ