Poliisi y’e Kagadi ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutta omusajja myaka 43.

Abakwate kuliko Nicholas Ankakwasa, Jonan Ahumuza ne Wilberforce Asiimwe nga bonna batuuze ku kyalo Mukaswa mu ggoombolola y’e Kicucura.

Kigambibwa nga 30, September, 2022 ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, Moses Tusiime bamuteega mu kkubo bwe yali addayo awaka ne bamufumita akambe.

Tusiime yali ava mu katawuni k’e Mukaswa era yafumitibwa akambe mu bulago emirundi egy’enjawulo era yafa bakamutuusa mu ddwaaliro e Kagadi.

Julius Mujuni ssentebe w’ekyalo agamba nti Tusiime yakuba enduulu ng’asaba obuyambi era abatuuze okutuuka nga Tusiime ali mu kitaba kya musaayi.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agamba nti abakwate bali ku misango gya kutta muntu.

Hakiza agamba nti mu kiseera kino bali mu kunoonyereza era essaawa yonna, abakwate bagenda kubatwala mu kkooti ku misango gy’obutemu.

Ate Michael Ogwal Achonga, meeya w’ekibuga Lira aguddwako emisango gy’okwagala okuwa enguzi Anatoli Katungwenzi, omuddumizi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga.

Achonga yakwatiddwa ne Walter Erico, ssentebe w’akakiiko k’ebyensimbi ne Kansala w’abavubuka ku Lwomukaaga oluvanyuma lw’okuwa Katungwenzi enguzi ya ssente 400,000.

Kigambibwa Achonga ne banne baawadde Katungwenzi enguzi okukomya okunoonyereza ku ngeri y’okugaba Tenda ya paaka ya baasi mu kibuga Lira.

Katungwenzi agamba nti Erico yamuwadde ebbaasi nga mulimu ssente 400,000 mbu zivudde wa meeya.

Wabula Jimmy Patrick Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga agamba nti meeya Achonga akwatiddwa ne munne era batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Lira ku misango gy’okuwa enguzi.

Ate sipiika w’olukiiko lw’ekibuga Lira Daniel Okello, avumiridde ekya Meeya okwenyigira mu kulya enguzi n’okulemesa entekateeka za Divizoni okulakulana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q