Munnamaggye eyawambye obuyinza mu ggwanga erya Burkina Faso asuubiza bannansi nga bw’agenda okukyusa eggwanga lyonna, okwesimisa buli munnansi.
Captain Ibrahim Traoré yawambye obuyinza akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano nga yasobodde okusindikiriza munnamaggye eyawamba obuyinza Lieutenant Colonel Paul-Henri Damiba mu Janwali guno omwaka omwaka 2022 okuva ku Marc Christian Kabore.
Wabula Captain Traore agamba nti eggwanga likyali mu katyabaga mu bitongole eby’enjawulo omuli ebitongole byokwerinda, ebyobulamu, eby’enjigiriza n’okuddamu okutumbula ebyenfuna.

Captain Traore myaka 34, tekimanyiddwa ki kyagenda kuzaako, oluvanyuma lw’okuwamba obuyinza.
Kigambibwa Lieutenant Colonel. Damiba myaka 41 yaddukidde mu ggwanga lya Togo.
Abamu ku balondoola ensonga z’obukulembeze bagamba nti Lieutenant Colonel. Damiba okulemwa okukola ku nsonga y’ebyokwerinda n’okuyisaamu amaaso ensonga z’ebitongole ebikuuma ddembe, y’emu ku nsonga lwaki yawambiddwa amaggye.

Wabula Gavumenti ya America erabudde bannansi baayo abali mu ggwanga lya Burkina Faso n’okusingira ddala mu kibuga Ouagadougou okwewala okumala gatambula olw’embeera y’obukulembeze eri mu nsi mu kiseera kino.
Captain Traore yayingira amaggye mu 2009 era y’omu ku bawagira Lt Col Damiba okuwamba obuyinza nga 24, Janwali, guno omwaka ogwa 2022.
Kigambibwa abantu okwekalakaasa nga basaba Lt Col Damiba, kivudde ku nsonga y’ebyokwerinda ng’abatujju beyongedde mu ggwanga.
Wabula mu kiseera kino obutakaanya bweyongedde wakati bannamaggye abali wansi wa Capt Traore eyakutte obuyinza ne bannamaggye Lt Col Damiba eyawambiddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q