Omwana ali mu maziga..

Poliisi ekutte abantu basatu (3) mu disitulikiti y’e Apac ku misango gy’okutulugunya abaana.
Abakwate kuliko Kenneth Okello, Nelson Ogwang ne mukyala we Collin Aol.
Kenneth Okello nga mutuuze ku kyalo Ajodoko ‘B’ cell, mu muluka gwe Alworoceng ali ku misango gy’okwokya mutabani we myaka mukaaga (6) Rogers Acama oluvanyuma lw’okulya enva nga tafunye lukusa.
Okusinzira ku mwogezi mu ggwanga Fred Enanga, Okello yasibye omwana emikono nga yeeyambisa emiguwa oluvanyuma yakutte ebisubi ebikalu, namwokya emikono ssaako n’okumukuba.
Ate Nelson Ogwang n’omukyala Collin Aol bali ku misango gy’okutulugunya ebuggye myaka munaana (8) Justine Adoko olw’okulya ekyenyanja kya kitaawe.
Mu kiseera kino abakwate bali ku kitebe kya Poliisi Apac ate abaana batwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.
Enanga agamba nti kyewunyisa abazadde okudda ku baana okutulugunya, abalina okubawa obukuumi.
Kinajjukirwa nti mu Gwomunaana, 2022, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Lira, yasindika mu kkomera Marcelina Akoli ne mutabani we Geoffrey Ojok okumala emyaka mukaaga (6) ku misango gy’okutulugunya omwana.
Kkooti yategeeza nti mu 2018 Ojok eyali omutuuze mu Monicipaali y’e Lira, yakwata omwana we namutwalira nnyina Akoli, omutuuze ku kyalo Barlonyo mu ggoombolola y’e Agweng, kwe kutandiika okumutulugunya.
Akoli yakwata omwana namwokya engalo nga n’okutuusa kati, yafuna obulemu.

More – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q