Ekiyongobero ekyongedde okubuutikira abasawo, omusawo omulala bw’afudde Ebola nga busasaana enkya ya leero.
Omusawo Margaret Nabisubi afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Fort Portal.
Okufa kwe, kulangiriddwa Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng enkya ya leero era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter.
Minisita Aceng agamba nti Nabisubi afiiridde ku myaka 58 era afudde ku ssaawa zibadde 10:33 ez’ekiro.
Nabisubi y’omu ku basawo abagibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mubende sabiiti ewedde okusindikibwa mu ddwaaliro ekkulu e Fort Portal, oluvanyuma lw’okuzuula nti balina Ebola.
Sabiiti ewedde ku Lwokutaano, Dr. Mohammed Ali nga yali munnansi wa Tanzania yafudde Ebola era yaziikiddwa e Fort Portal, olw’okutangira okutambuza obulwadde.
Okuva omwezi oguwedde, Uganda lwe yazuula nti Ebola yabaluseewo mu disitulikiti y’e Mubende, ayongedde okusasaana, nga yakazuulibwa mu disitulikiti endala satu (3).
Kuliko Kyegegwa nga bakazuula abantu basatu (3) abalwadde, Kassanda omuntu omu (1) ne Kagadi bakazuula omuntu omu.
Wabula Minisita Aceng agamba nti Dr. Nabisubi awezezza omuwendo gw’abasawo 4 abafudde Ebola okuva omwezi oguwedde, “The late Margaret is the 4th health worker we have lost in the current Ebola outbreak after the probable case of the midwife, Dr. Ali and the health assistant in Kagadi District.
May their souls rest in eternal peace“
Ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q