Omuwala ali mu kyaka 25 atabukidde mukwano gwe, bw’amukutte lubona ng’asinda omukwano ne ‘Boyfriend‘ we mu kazigo.

Omuwala ategerekeseeko erya Jenny agamba nti abadde afuna amawulire nti mukwano gwe Shanny ayagala ‘Boyfriend’ we Henry wabula ng’alowooza bigambo bya bantu.

Jenny agamba nti wiiki ewedde ku Lwokusatu nga 28, September, 2022, yakutte Shanny ne Henry mu bitundu bye Wandegeya nga bali kulya kyemisana, Henry kwe kutegeeza nti naye enjala ebadde emuluma kwe kusalawo okulya ne Shanny emmere.

Ng’omuwala omulala yenna, Jenny agamba nti yeekengedde Henry ne Shanny era yazzeemu okufuna ekirowoozo nti ddala Shanny ayinza okuba ayagala ‘Boyfriend’ we Henry.

Jenny agamba nti yafunye mukwano gwe Paul ng’avuga bodaboda okulondoola Shanny ne Henry okuzuula oba ddala bali mu laavu.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 12, Jenny yafunye essimu ya Paul nga Henry atuuse mu kazigo ka Shanny mu bitundu bye Bulenga.

Ku ssaawa 12:30 ez’akawungeezi, Jenny yatuuse ku kazigo ka Shanny kyokka yaguddewo ekigwo oluvanyuma lw’okukizuula nti Boyfriend’ we Henry ali mu kaboozi ne Shanny.

Wadde Jenny yabadde ali mu maziga, yalagidde Shanny okuggulawo oluggi kuba akooye ejjoogo.

Mu kusooka Shanny yabadde agaanye wabula oluvanyuma yagguddewo era okulwanagana kwatandikiddewo.

Henry yasobodde okudduka era Shanny yataasiddwa Paul ne neyiba.

Jenny agamba nti Shanny abadde mukwano gwe emyaka egisukka mwe 5 era abadde akimanyi bulungi nti ali mu laavu ne Henry nga kiswaza ate okudda ku muganzi we.

Agamba nti abadde yeesiga Shanny nga talowooza nti ayinza okudda ku Henry.

Ate Shanny agamba nti talina musango kuba naye muwala ate talina musajja nga Jenny alina kunenya Henry eyamukwana.

Shanny agamba nti Henry yamukwanira ebbanga erisukka omwaka mulamba era okumuwa ebyalo, ng’atendewaliddwa.

Asabye mukwano gwe Jenny, okutuula ne muganzi we Henry amunyonyole lwaki amwendako okusiinga okudda mu kutaataganya ebiseera byabwe eby’okusinda omukwano.

Jenny agamba nti alina emikwano gy’abawala ab’enjawulo kyokka Shanny ye muwala asoose okwagala muganzi we era bambi amukoze bubbi nnyo kuba abadde alowooza nti Henry kati ye musajja yekka ali ku mutima gwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q