Pulezidenti w’eggwanga erya Nigeria Muhammadu Buhari alangiridde olutalo, okulwanyisa abasomesa, abegumbulidde okusaba abayizi akaboozi olwa makisi ku Yunivasite ez’enjawulo.

Okunoonyereza kulaga nti mu Nigeria, ebikolwa eby’abasomesa okusaba abayizi, okudda mu kusinda omukwano, byeyongedde, ekivuddeko n’omutindo gw’ebyenjigiriza okweyongera okusereba.

Pulezidenti Buhari agamba nti abayizi beyambisa obukodyo obw’enjawulo okuyita ebigezo omuli okuwaayo ssente, okuwaayo akaboozi eri abasomesa abasajja n’abakyala, abamu okwenyigira mu kubba ebigezo, waliwo abawaayo ssente ogula ebigezo nga byonna, bittattana omutindo gw’ebyenjigiriza.

Buhari era agamba nti wakati mu kulwanyisa obuli bw’enguzi, ebikolwa ebyo, byenyigira mu kulya enguzi nga ye ssaawa, abakulembeze okuvaayo okubirwanyisa.

Mungeri y’emu alagidde okuteekawo akakiiko okunoonyereza, ebikolwa eby’abasomesa okudda mu kwegadaanga n’abayizi, olw’okubasuubiza okuyita obulungi ebigezo ng’abangi ku bayizi abatikiddwa, bayita bulungi ebigezo olw’okutulugunya ebitundu by’ekyama mu kifo kye mitwe.

Kinnajjukirwa nti mu 2019, BBC yakola okunoonyereza nga kituufu, omuwala omu ayinza ogatika abasomesa abasukka mw’omu, bwe kiba nga kimuyisaawo, okufuna makisi zeyetaaga okuyita ebigezo.

Okunoonyereza kwakolebwa mu Nigeria ne Ghana ng’abasomesa abamu ku Yunivasite, bakikola bakigenderedde okusuula abayizi ebigezo, okusobola okubasembeza, okubasaba akaboozi, okubawa makisi zebetaaga, okuyita ebigezo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q