Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) abotodde ekyama lwaki alemeseddwa okuyimba mu kibuga Dubai mu ggwanga lya United Arab Emirates.

Bobi Wine yabadde alina ekivvulu e Dubai okusonda ssente z’okuyamba bannayuganda abasobeddwa eka ne mu kibira mu nsi z’ebweru nga betaaga okudda awaka.

Ekivvulu kye Dubai

Yabadde asuubira okung’aanya ssente okutaasa abantu abasukka mun 100 wabula ku ssaawa envanyuma, ekivvulu kyayimiriziddwa.

Wabula Bobi Wine agamba nti yakwatiddwa nga yakatuuka ku kisaawe ky’ennyonyi mu kibuga Dubia era yafunye okutya nti ekivvulu kiyinza okufuna obuzibu.

Bobi Wine e Dubai ne banne

Ku kisaawe bwe yabadde akwatiddwa, agamba nti yabuuziddwa abaserikale ku nsonga ez’enjawulo omuli ekibiina ki NUP, abakulembeze mu kibiina, essimu zaabwe, ebikwata ku famire ye, essimu zaabwe ssaako n’ebikwata ku biwandiiko byabwe, “In Dubai to perform at a charity concert to assist some of the Ugandan immigrant workers. Been held at the airport for almost 10 hours, being interrogated mostly about NUP! Landed in Dubai at 8:30pm. It’s now 5am. I’ve been held & interrogated for 8hrs. They asked me about NUP, it’s leaders, their phone numbers, my family members & their contacts! I have all necessary travel docs“.

Bobi Wine era agamba nti wadde oluvanyuma yayimbuddwa, yategeezeddwa nti ekivvulu kiyimiriziddwa.

Agamba nti afunye amawulire nti abakungu ba Uganda baludde nga bakola kyonna ekisoboka okuyimiriza ekivvulu era ku ssaawa envanyuma, nannyini kifo, yalagiddwa okuyimiriza ekivvulu, “Unfortunately our Charity Concert in Dubai has been cancelled! The venue owner has been instructed to cancel. The information available shows Ugandan authorities have been working tooth and nail to ensure it doesn’t happen! The first attempt was to deny me entry, and now this“.

Oluvanyuma lwa Bobi Wine okuyingira ebyobufuzi omuli n’okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021, taddangamu kuyimba.

Abamu ku bakulu mu Gavumenti bagamba nti yali asukkiridde okuzannya ebyobufuzi era y’emu ku nsonga lwaki yagaanibwa okuddamu okuyimba.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=QuXYBoltAfc