Ekibiina ekigata abakozi n’abasuubuzi mu ggwanga erya Kenya ekya Central Organisation of Trade Unions (Cotu) kiwanjagidde Gavumenti okuwera kampuni zonna ezitwala bannansi ku kyeyo mu ggwanga lya Saudi Arabia.
Ekibiina okuvaayo, kidiridde akatambi okutambula ku mikutu migatta abantu nga waliwo omukozi munnansi wa Kenya, ali mu ggwanga lya Saudi Arabia, ali mu kuyonsa embwa.
Mu katambi, omuwala ali mu gy’obukulu 23, ali maziga wakati mu kuyonsa embwa era kigambibwa aludde nga zimukozesa.
Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina Francis Atwoli, Gavumenti erina okuyimiriza kampuni yonna okutwala bannansi ba Kenya mu Saudi Arabi, okutuusa nga waliwo endagaano wakati wa bakulembeze b’ensi.

Atwoli agamba nti bakooye bannansi okutwalibwa ng’abaddu mu Saudi Arabia, ekivuddeko abamu okuttibwa ate abakaaba beyongedde obungi.
Agamba nti omuwala ali mu kuyonsa embwa, yali yakamala okuzaala ng’alina omusajja n’abaana nga kiswaza okumuwa embwa okuyonka mu Saudi Arabia.
Ate Poliisi mu ggwanga erya South Africa erangiridde nti omusajja eyakwatiddwa myaka 21, aguddwako emisango gy’obutemu.
Poliisi egamba nti ezudde emirambo 6, 5 gitandise okuvunda mu kizimbe mu kibuga Johannesburg.
Emirambo gyonna gy’abakyala era gizuuliddwa nga gisibiddwa akandooya ate omu ku bakyala abattibwa nga akawale k’omunda kali wansi wa maviivi ng’omutwe n’obulago, kubikiddwa sikaati.
Poliisi egamba nti oluvanyuma lw’abatuuze okwemulugunya ku kivundu, y’emu ku nsonga lwaki yakoze ekikwekweeto mu kizimbe ne bazuula emirambo 6.
Omuvubuka aguddwako emisango gy’okutta abantu 6.
Mu kwekebejja emirambo, kiraga nti omuvubuka abadde abasobyako oluvanyuma ne battibwa.
Ebirala ebiri mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q