Kyaddaki Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku bantu abaakwatiddwa ku misango gy’okubba abantu nga basinzira ku Northern Bypass.

Sabiiti ewedde ku Lwokusatu nga 5, October, 2022, ku kyalo Ntebetebe ku Northern Bypass mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso Poliisi eriko abantu beyakutte, beyataasiza ku batuuze nga baagala okubatta, abaludde nga beyambisa takisi enjeru namba UBD 071P okubba abantu.

Abakwate okuli Benjamin Seruyange 30 ne Jonas Kanyike 27 nga bonna batuuze b’e Namungoona mu Divizoni y’e Lubaga mu Kampala, Everine Busingye 30 nga mukozi mu bbaala e Kyambogo e Nakawa ne Mercy Namyalo nga mutuuze we Kibuye, e Makindye mu Kampala era Poliisi weyatuukidde okutaasa nga bakubiddwa, bali mu mbeera mbi era nga bonna bayambuddwa.

Wadde Poliisi yavuddeyo okutaasa, okuva ku Lwokutaano nga 7, October, 2022, vidiyo zibadde zitambula ku mikutu migatta abantu n’okusingira ddala WhatsApp ng’abakyala bonna bayambuddwa, nga waliwo abasajja abakwata akatambi.

Mu katambi, mulimu amaloboozi ng’abasajja balagira abakyala okugaziya amagulu okulaba ebitundu by’ekyama, ekintu ekityoboola abakyala bonna.

Mu kunoonyereza, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti abakwate essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Fred Enanga

Poliisi mu ngeri y’emu eri mu kunoonya abantu bonna, abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo, okudda ku babbi okuba n’okubambula.

Enanga agamba nti wadde abatuuze baakoze omulimu mulungi okulemesa ababbi okudduka, naye okudda ku bakyala okubambula, kityoboola ekitiibwa ky’obukyala era balina okukirwanyisa.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru agamba nti abantu bonna abali mu katambi nga benyigidde mu kwambula ababbi omuli abakyala n’abaami n’okubakuba, bali mu kunoonyezebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q