Abantu 11 bafiiriddewo mu kabenje mu ggwanga lya Mali, bbaasi bw’erinnye ku kintu ekibwatuka ku luguudo lwe Bandiagara ne Goundaka.

Ate bangi batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi kuba bbaasi eweddewo.

Okutya kweyongedde mu ggwanga erya Mali, olw’abatujju okweyongera okutigomya ensi era kivuddeko bangi ku bannansi okusenguka.

Akabenje

Okusinzira ku kibiina ky’amawanga amagate, abantu abasukka mu 70 battiddwa okuva mu Janwali okutuusa mu Gwomunaana, guno omwaka 2022, nga kivudde ku batujju okweyongera okusuula ebibwatuka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Abattiddwa, mwe muli bannamaggye n’abantu babuligyo.

Ate mu Nigeria, abasomesa ku Yunivasite ez’enjawulo bakaanyiza okudda mu kibiina, okusomesa abayizi oluvanyuma lw’emyezi 8 nga bali mu kediimo.

Abasomesa bateeka wansi ebikola olw’okubanja okubongeza ku ssente z’emisaala n’okulongoosa embeera gye bakoleramu.

Wadde omwezi oguwedde, kkooti yalagira abasomesa okudda mu kibiina, n’abo baddukira mu kkooti nga bawakanya okudda mu kibiina.

Okwekalakaasa mu Nigeria

Wabula enkya ya leero, abasomesa abegatira mu kibiina kyabwe ekya Academic Staff Union of Universities (Asuu) bakaanyiza okudda mu kibiina.

Wadde amyuka Pulezidenti w’ekibiina Chris Piwuna, agamba nti bakaanyiza okudda mu kibiina, agaanye okwatuukiriza ensonga lwaki bakkiriza okuddamu okusomesa abayizi.

Abasomesa basabiddwa okudda mu kibiina ku Mmande sabiiti ejja newankubadde tekimanyiddwa oba ensonga zaabwe zikoleddwako.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jZxP0k-lXLs