Mu nsi y’omukwano, teri musajja yenna ayinza kutwala mukyala nga talina mazzi mu nsonga z’okusinda omukwano.

Amazzi g’omukyala gayambako omusajja okunyumirwa wakati mu kikolwa n’obutafuna bulumi.

Olunnaku olwaleero, tukuleetedde ebiyinza okuyamba omukyala yenna okufuna amazzi, okuwa omusajja essanyu.

1 – Olina okwewala ebirowoozo ebisukkiridde!

Wadde buli muntu alina ebirowoozo, naye ebirowoozo ebisukkiridde sibirungi mu nsonga z’omukwano. Ebirowoozo biyinza okulemesa omuntu yenna okusumulula ttaapu z’amazzi.

2 – Okwewala okuteeka ebintu mu bukyala!

Olw’abakyala okunoonya engeri ez’enjawulo okuwa abasajja essanyu, bangi begumbulidde okuteeka ebintu eby’enjawulo mu bukyala. Okunoonyereza kulaga nti ebintu ebyo, biyinza okuvaako omukyala yenna okuba Nabukalu.

3 – Okwetekateeka obulungi!

Omukyala yenna okunyumirwa akaboozi, alina okufuna omusajja amutegeera obulungi. Akaboozi kalina kutandikira mu bwongo, singa omukyala yenna alemwa okutekateeka obwongo, ayinza okulemwa okwesumulula obulungi akaboozi.

4 – Okunoonya sitayiro ennungi!

Mu kaboozi abantu balina sitayiro ez’enjawulo kyokka okunoonyereza kulaga nti buli mukyala alina sitayiro emwanguyira okuleeta amazzi obulungi.

5 – Okunywa amazzi!

Okunywa amazzi kiyambako buli mukyala yenna okufuna amazzi mubiri. Singa omukyala afuna amazzi mubiri, kiba kyangu nnyo, okuwa ku musajja singa batuuka mu kisenge. Omukyala nga talina mazzi mubiri, kiba kizibu nnyo, okuwa omusajja yenna amazzi okunywa nga bali mu kusinda mukwano.

6 – Okulya ebibala n’enva endirwa!

Wadde abamu balowooza nti tebalina ssente okubyetusaako, singa omukyala yenna abifuna, kiyambako okufuna amazzi mubiri.

7 – Okwebuuza ku Musawo!

Waliwo abakyala nga balina obuzibu. Abakugu bagamba nti buli mukyala alina amazzi, singa ofuna omukyala yenna nga mukalu nnyo, osobola okwebuuza ku basawo, okufuna okuyambibwa.

8 – Olina okwewala okunywa sigala!

Emyaka n’okunywa sigala, biyinza okuvaako omukyala yenna, okubulwa amazzi.

9 – Okuwuliza omubiri gwo!

Omukyala yenna mu kaboozi alina okuwuliza omubiri. Mu kaboozi, omukyala yenna afuna muudu y’akaboozi, ayinza okuleeta amazzi naye singa atuuka mu kaboozi ng’alina ebirowoozo, kiyinza okumulema.

10 – Olina okwewala okutya ng’oli ne munno mu kaboozi ate mulina okuwuliziganya wakati mu kikolwa.