Ku ntikko…
Abantu bakola ebintu eby’enjawulo okuwa abakyala essanyu kyokka okunoonyereza kulaga nti ekisenge, y’emu ku nsibuko y’essanyu.
Okusinzira ku ssenga Kawomera, okuwa omukyala essanyu mu nsonga z’okusinda omukwano, olina okumutegeera, omubiri gwonna.
Ssenga Kawomera agamba nti obunnene bwa waaya si kikulu singa otegeera omukyala obulungi.
Okunoonyereza era kulaga nti kikulu nnyo, omusajja yenna okutuusa omukyala ku ntikko kuba kiyamba nnyo okutangira omukyala yenna okuwankawanka.
Omukyala ayinza kutwala bbanga ki okutuuka ku ntikko?
Abakyala balina emibiri egy’enjawulo era n’okutuuka ku ntikko, batwala eddakika ez’enjawulo. Omukyala yenna okutuuka amangu ku ntikko oba okutwala, kiyinza okuva ku nneyisa y’omusajja.
Ssenga Kawomera agamba nti singa omusajja yenna atwala obudde bwe okuteekateka omukyala, kiyinza okumwanguya okutuuka ku ntikko. Mungeri y’emu agamba nti abakyala bangi balemwa okutuuka ku ntikko olwa basajja okuba n’amaddu nga tebalina budde kuteekateka mukyala.
Embeera y’omukyala mu kaboozi kikulu nnyo!
Omukyala yenna okutuuka ku ntikko, alina okuba mu mmuudu. Omuntu yenna singa afuna mmuudu y’okumusakata waya obulungi, omubiri gwesumulula bulungi era kiyamba nnyo omukyala yenna okutuuka amangu mu bwengula.
Okuwa omukyala essanyu mu kisenge!
Ebintu bingi nnyo ebiyinza okuwa omukyala essanyu mu kisenge. Ssenga Kawomera agamba nti omusajja yenna alina okweyambisa ebigambo ebiwaana omukyala wakati mu kikolwa. Okweyambisa amaanyi agasukkiridde wakati mu kusinda omukwano tekiraga maanyi wabula obukugu kiyamba nnyo okusanyusa munno.
Singa omusajja yenna asobola okumatiza obwongo bw’omukyala mu kiseera ky’akaboozi, omukyala anyumirwa nnyo waya kuba omukwano gutandikira mu bwongo.
Okugwa ebbakuli!
Abakyala abamu kiyinza okuba ekizibu okutuuka amangu ku ntikko kyokka okunoonyereza kulaga nti okugwa ebbakuli y’omukyala yenna, kyanguya okusumulula ensulo z’omukyala.
Olina okwewala amaddu!
Omusajja yenna ayinza okulemwa okutuusa omukyala yenna ku ntikko singa alemwa okumuwa obudde okumutekateeka obulungi. Omusajja singa alaga amaddu agasukkiridde, kiyinza n’okunyiiza omukyala.
Omukyala n’omusajja olina okuba omuyonjo! Obuyonjo kintu kikulu nnyo mu nsonga z’omukwano. Singa omukyala oba omusajja batuuka mu kaboozi nga munne mukyafu, ayinza okwetamwa akaboozi.
Olina okulaga obukugu mu nsonga z’okunywegera munno kuba nakyo kikulu nnyo mu nsonga z’omukwano.
Olina okulaga nti olina obukodyo obw’enjawulo mu nsonga z’omu kisenge. Okweyambisa sikiiru zezimu buli lunnaku, omuntu ayinza okwetamwa omukwano.
Olina okunoonya G-Spot!
Okuzuula G-Spot y’omukyala kiyinza okuba ekizibu naye okuwuliziganya obulungi wakati mu kikolwa, kiyamba nnyo. Omusajja alina okubuuza omukyala engeri y’okutuuka ku ntikko. Abamu ku bakyala bayinza okusirika singa omusajja alemwa okubuuza ate waliwo abakyala nga tebakimanyi kale okwebuuza gwe ng’omusajja, kikulu nnyo.
Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q