Kyaddaki ekitongole kya Poliisi nga kiri wamu ne Minisitule y’ebyenjigiriza ssaako n’ekitongole ekirondoola ensonga z’abaana ekya National Children Authority, bazudde essomero omwavudde akatambi, akalaga abaana abato nga bali mu nsonga z’ekikulu.
Mu katambi, akaabadde kali mu kutambula ku mikutu migatta abantu nga ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni tannaba kuteeka mukono ku tteeka lya Kompyuta ekambwe erya Computer Misuse Act, kalaga abaana abali mu myaka 7, nga bali mu nsonga z’ekikulu.
Mu katambi, omusomesa omukyala yabadde alagira abaana okuddamu ebikolwa omuli omulenzi okuddamu okukomba ebitundu by’ekyama eby’omwana omuwala, asobole ofuna akatambi akalungi, okutambula ku mikutu migatta abantu.
Mu kunoonyereza, Poliisi ezudde essomero abayizi kwebasomera erya Vision Academy Nursery and Primary mu ggombolola y’e Muduuma mu disitulikiti y’e Mpigi.
Omu ku basirikale agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti ku ssomero, abasomesa bonna badduuse ssaako n’abayizi, nga wasangiddwaawo abayizi 10 bokka.
Wabula Martin Kasagara Kiiza, ssenkulu wa National Children Authority, agamba nti abali mu kunoonya omusomesa eyakwata akatambi, avunaanibwe.
Mungeri y’emu agamba nti balina okufuna akakiiko, okulondoola ensonga z’abayizi nga bali mu masomero.
Ate ssaabawandiisi w’ekibiina ekigata abasomesa ekya UNATU Filbert Baguma, agamba nti wadde omusomesa yakoze nsobi, balina okunoonyereza okuzuula engeri abaana abato gye bayiga ebikolwa eby’obuseegu, ku myaka egyo, okulowooza okudda mu kwesa empiki mu ssaawa z’okusoma.

Baguma agamba nti abazadde bangi balemeddwa okutangira n’okukuuma abaana baabwe okwetangira ebikolwa by’obuseegu ne balowooza ensonga zonna okuzikwasa abasomesa.
Mungeri y’emu agambye nti essomero okumala galondalonda abasomesa nga tewali kubalondoola, nakyo kyongedde okusajjula embeera okufuna abasomesa ab’ekibogwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q