Poliisi ekutte abakyala abasukka mu 100 mu kibuga Nairobi mu ggwanga erya Kenya, abamu kw’abo abaludde nga batunda omukwano.

Abakwate bagiddwa mu bitundu bye Nairobi eby’enjawulo nga kivudde ku basuubuzi okwemulugunya mu bitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye.

Abasuubuzi bagamba nti abakyala beyongedde obungi ku nguudo, okwetunda emisana mu maaso g’amaduuka gaabwe, ekyongedde okulemesa okusindikiriza abaguzi n’okufuuka ekyesitaza eri bakasitoma baabwe.

Bakwatiddwa

Abamu bagamba nti obubbi bubadde bweyongedde mu kibuga, obuseegu nga kivudde ku bakyala okwetunda okweyongera.

Kigambibwa, mu kiseera eky’okulwanyisa Covid-19, abawala bangi tebaddangamu kufuna mirimu nga mu kiseera kino balina kwetunda, okufuna eky’okulya n’okutambuza obulamu.

Abakyala abali mu kwetunda bali wakati w’emyaka 20 – 35 nga bangi bakeera ku nguudo okunoonya abasajja.

Mu kwetunda, bakozesa ebigambo by’obuseegu mu maaso g’amaduuka, ekyongedde okutabula abasuubuzi.

Abamu ku bakyala bano abatunda omukwano, bagiddwa okumpi ne House of Judah Church ku luguudo lwe Ndumberi Road, Central Day Nursery School ku luguudo lwe Ngariama, Charles Rubia Road n’ebitundu ebirala.

Okwetunda mu Kenya

Abasuubuzi bagamba nti Bamalaaya batuuka ku nguudo okuva ssaawa 1 ey’oku makya okutuusa ekiro era baludde nga basaba ebitongole ebikuuma ddembe okuyamba.

Mu kikwekweeto, abasukka 100 bakwatiddwa ku misango egy’enjawulo omuli egy’obubbi, okusasaanya obuseegu n’emisango emirala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q