Okunoonyereza ku kyavuddeko omuyimbi Michael Benjamin amanyikiddwa nga Mikaben munnansi wa Haiti kutandiise okuzuula ekyamusse.
Mikaben yazaalibwa nga 27, Ogwomukaaga, 1981 e Port-au-Prince, Haiti era yafiiridde ku myaka 41.
Bwe yabadde mu ggwanga erya France mu kibuga Paris mu Accor Arena, etuuza abantu abasukka 20,000, Mikaben yagudde ng’ali ku siteegi.

Kigambibwa yabadde amaze okuyimba era bwe yabadde ava ku siteegi, yagudde wansi, ekintu ekyalese abadigize nga basobeddwa.
Mikaben yafudde ekiro ku Lwomukaaga era ku Ssande, aba Accor Arena kwe kutegeeza ensi yonna.

Mikaben abadde mutabani wa Lionel Benjamin myaka 77 eyali omuyimbi omugundivu mu biseera bye.
Abadde musajja mufumbo era wafiiridde ng’alina abaana n’omukyala.
VIDIYO!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aFbpeoB3-uc