Abamu ku bannayuganda abaziddwa kuno ekibiina ki National Unity Platform (NUP), abaludde nga bali maziga mu kibuga Dubia, kabuze kata okulukusa amaziga mu kujjukira embeera embi, gye baludde nga bawangaliramu.

Abawala 12 baakomyewo akawungeezi olw’eggulo ku Lwokusatu mu Kampeyini ekulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Nga bazinzira ku kitebe kya NUP e Kamwokya, bagamba nti balabidde ennaku ya buli ngeri nga bali mu kibuga Dubai, gye baali baddukira nga basuubira okukyusa obulamu.

Omu ku bawala agamba nti, amaze e Dubia emyaka 4 kyokka abadde tasasulwa wadde okuweebwa eky’okulya ng’alina kweyiiya. Mungeri y’emu agamba nti akoze emirimu egy’enjawulo okugezaako okukyusa obulamu n’okufuna ku ssente nga gyonna taweebwa wadde 100.

Ng’ali ku NUP e Kamwokya

Ate omuwala omulala agamba nti olw’embeera, abadde alina okweyambisa empale emu emyezi egisukka 2 ate singa bagenda mu nsonga, ng’alina okweyambisa paadi emu.

Omuwala era agamba nti Bobi Wine bwe yali mu kibuga Dubai, kwe kulaba embeera gye balimu era amangu ddala yabasuubiza okukola kyonna ekisoboka, okudda awaka.

Basiimye Bobi Wine n’ekibiina ki NUP okuyamba okudda mu Uganda okubataasa okufa.

Eddoboozi ly’abaana abawala

NUP yekokkodde Gavumenti olw’okugezaako okutiisatisa abawala bebakomyawo.

Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina ki NUP, Joel Besekezi Ssenyonyi, abamu ku baana bali kutya kwe kusaba Gavumenti okwesonyiwa bannakibiina kuba tebalina musango gwonna.

Ate Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya agamba nti ng’ekibiina ki NUP, basobodde okukomyawo abaana 40 kyokka bangi bakyali mu Dubai bali mu maziga.

Rubongoya agamba nti bali mu ntekateeka, okwongera okuyamba abaana okudda mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BNv1CLwaVtA