Omukyala amukutte…
Omusajja ali mu myaka 40 aswadde mu maaso ga mukyala we, asangiddwa lubona ng’ali mu kaboozi n’omuwala ali mu myaka 20.
Omusajja ategerekeseeko erya Isma bamukwatidde mu loogi mu bitundu bye Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Mukyala we maama Ibra agamba nti abadde yafuna dda okwekengera nti bba taata Ibra alina omuwala omulala nga n’ensonga z’omu kisenge takyafaayo.
Ng’omukyala omulala yenna alumirirwa amakaage, ne maama Ibra yasalawo okulondoola bba, okufuna ekituufu.
Maama Ibra yafuna mukwano gwe ng’avuga bodaboda ategerekeseeko erya Kisekka, okuyambako mu kulondoola entambula ya bba buli kawungeezi.
Olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi, maama Ibra yafunye essimu ya Kisekka nga bba bw’alinnye bodaboda okugenda mu bitundu bye Gombe, ku luguudo oluva e Matugga okudda e Semuto mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Maama Ibra agamba nti yasabye Kisekka okulondoola bba okuzuula gye yabadde agenda.
Ku ssaawa nga 12:30 ez’akawungeezi, Kisekka yakubidde maama Ibra nti abba ayingidde mu loogi.
Ku ssaawa 1 ey’akawungeezi, maama Ibra yabadde atuuse ku loogi, kwe kubuuza akasenge bba mwagenze n’omukyala.
Wadde mu kusooka omu ku bakozi ku loogi yabadde agaanye okulagirira maama Ibra, yasobodde okumutisatiisa okumuggyamu amawulire.
Okutuuka mu kisenge kya loogi, nga Isma ali mu kaboozi n’omuwala era amangu ddala okulwanagana okw’amaanyi kwatandikiddewo.
Isma yasobodde okutaasa omuwala okudduka, kwe kulabula mukyala we maama Ibra okukomya okumulondoola.
Ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, Kisekka yasobodde okuzaayo maama Ibra awaka mu bitundu bye Matugga nga n’omusajja yasobodde okulinya bodaboda, okudda mu bitundu bya Kampala.
Lwaki obwenzi bweyongedde!
Ssenga Kawomera agamba nti ebintu bingi nnyo ebivuddeko abantu okweyongera okwenda.
Kawomera agamba nti abasajja bangi balemeddwa okuwa abasajja obudde mu nsonga z’omu kisenge, ekivuddeko abasajja okufuna ennyonta y’omukwano. Ssenga Kawomera agamba nti ekyo, kivuddeko bangi ku basajja okudda mu bwenzi olwa bakyala okudda mu kunoonya ssente.
Mungeri y’emu agamba nti abasajja bangi banyumirwa nnyo okuvumbula ebipya. Ekyo kiyinza okuvaako abasajja abamu okwenda naye nga tebalina nsonga yonna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=AhjFYpPn05A