DJ Junior attiddwa…

Poliisi mu bitundu bye Kiira eri mu kunoonya abatemu, abenyigidde mu kutta Amon Maasa myaka 32.
Maasa abadde amanyikiddwa nga DJ Junior ng’abadde mutuuze mu tawuni Kanzo y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja.
Yakubiddwa essasi mu mbiriizi eryamusse, omulambo ne bagusuula mu Kalagi mu Tawuni Kanso y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja.
DJ Junior abadde akolera mu bbaala ez’enjawulo omuli Bintu’s bar mu Tawuni Kanso y’e Buwenge era okunoonyereza kulaga nti yattiddwa abantu abali ku Bodaboda.
Omulambo gwa DJ Junior gwalabiddwa abatuuze abaakedde okugenda mu nimiro, kwe kutemya ku Poliisi.

Abatuuze nga balaba omulambo


Mohammed Basiiba, omu ku batuuze asabye ebitongole ebikuuma ddembe okuyamba okunoonya abatemu kuba Maasa abadde musajja nga talina buzibu bwonna ku bantu.
Taata w’omugenzi Yelemiya Kimuli agamba nti yetaaga okuzuula lwaki mutabani we yattiddwa, kwe kusaba Poliisi okuyamba okuzuula abatemu.
Ate ssentebe w’ekyalo Jennipher Naita asabye bannanyini bbaala mu kitundu, okuwa abakozi ebyokwerinda n’okusingira ddala abatambula obudde bw’ekiro.
Madinah Kango nga naye mutuuze, agamba nti mu kitundu kyabwe, ababbi beyongedde obungi, kwe kusaba Poliisi okwongera amaanyi mu byokwerinda.
Ate amyuka omubaka wa Pulezidenti e Jinja (RDC) Juma Kigongo agumizza abatuuze ku nsonga y’okunoonya abatemu n’ensonga y’ebyokwerinda.

James Mubi


James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agamba nti Poliisi yasobodde okuzuula ekisosonkole kye ssasi okuyambako mu kunoonyereza.
Mubi era agamba nti omuntu omu akwatiddwa (amannya gasirikiddwa) okuyambako mu kunoonyereza kwabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5MjvROqkaYQ