Munnakibiina ki Democratic Party (DP) akwatiddwa ku misango gy’okutta bba.
Francesca Amony eyali omuwandiisi w’abakyala mu DP yeetutte ku Poliisi Lacor Police Post mu ggoombolola y’e Bardege-Layibi oluvanyuma lw’okutta bba Dr. Joseph Etuk.
Amony myaka 34 nga ye Kansala we ggoombolola y’e Pece kigambibwa yafunye obutakaanya ne bba ku Lwokutaano ekiro, ekyavuddeko okulwanagana.
Wakati mu kulwana, omukyala Amony yakutte akambe kwe kufumita omusajja Dr. Etuk emirundi egy’enjawulo, ekyavuddeko okufa kwe.

Amony ne bba Dr. Joseph Etuk kati omugenzi


Omusajja abadde musawo mu kibuga kye Mbarara ate omukyala munnamateeka, munnabyabufuzi ate mulwanirizi wa ddembe.
Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti ettemu lyabadde mu maka gaabwe ku kyalo Keyi ‘’A’’ Cell mu muluka gwe Kabedpong Ward mu ggoombolola y’e Bardege-Layibi mu kibuga Gulu.
David Ongom Mudong, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa agamba nti omukyala ali ku misango gya butemu ku fayiro namba SD Ref: 17/29/10/2022 era akuumibwa ku Poliisi y’e Gulu West Division Police Station.

Amony aguddwako gya butemu


Mudong agamba nti omusajja yafudde bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Gulu.
Poliisi esobodde okuzuula akambe omukyala Amony keyakozesezza okutta bba.
Abamu ku batuuze bagamba nti Dr. Etuk n’omukyala Amony baludde nga balina obutakaanya ng’omusajja alumiriza omukyala obwenzi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5MjvROqkaYQ