Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsolo z’omu nsiko ekya Uganda Wildlife Authority, (UWA) kiri mu kunoonya abatuuze ku kyalo Bukora mu ggoombolola y’e Buhumuriro mu disitulikiti y’e Kagadi ku misango gy’okutta amazike okufuna ennyama.

Okusinzira ku Sergeant Wilson Amanyire okuva ku Poliisi y’e Muhorro akulira okukuuma ensolo z’omu nsiko, Poliisi ekutteko omuntu omu, okuyambako mu kunoonya abalala.

Poliisi egamba nti omukwate (amannya gasirikiddwa) akkiriza okwenyigira mu kutta amazike, nga banoonya ennyama.

Omukwate atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kagadi.

Amanyire alabudde abatuuze okwesonyiwa ensolo z’omu nsiko nga ziyinza okubalwaza obulwadde omuli Ebola.

Okunoonyereza kulaga nti abatuuze mu disitulikiti y’e Kagadi begumbulidde okulya ennyama y’omu nsiko. Abamu bagitwala ku kkubo okwokya obunyama, okutunda okufuna ensimbi.

Omwaka oguwedde, waliwo abatuuze mu ggoombolola y’e Mpeefu, abaakwatibwa ku misango gy’okutta empologoma okufuna ennyama.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5MjvROqkaYQ