Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga erya Congo Daniel Aselo Okito, alagidde ebitongole ebikuuma ddembe, okunoonya abantu bonna abakulembeddemu okutekateeka ekivvulu ky’omuyimbi munnansi wa Congo Fally Ipupa bakangavulwe.
Mu kivvulu ekyabadde mu kisaawe mu kibuga Kinshasa, abantu 11 battiddwa okuli abasirikale babiri (2).

Okunoonyereza, kulaga nti abategesi, bakkiriza abantu okuyingira ekisaawe, abasukka 80,000 abakkirizibwa mu kisaawe.
Mu kanyigo n’okwerinnya, abantu 11 kwe kuttibwa ku Lwomukaaga ekiro.
Wabula Minisita Okito agamba nti waddewo obulagajjavu, kwe kulagira Poliisi okunoonya abategesi, abaalemeddwa okufaayo ku bulamu bw’abantu ne balowooza okunoga ensimbi.
Mungeri y’emu n’omuyimbi Ipupa, asaasidde famire z’abantu, abaafiridde mu kivvulu.

Kigambibwa, abadigize baabadde bangi ddala nga y’emu ku nsonga lwaki ebitongole ebikuuma ddembe byalemeddwa, okutaasa abantu okufa.
Ezimu ku nnyimba ezivudde Ipupa omu ku bayimbi abakola obulungi mu Africa kuliko Likolo, Amore, Eloko Oyo, Bloque, Maria PM, Un Coup n’endala.
Ate omukulembeze w’eggwanga erya Somalia Hassan Sheikh Mohamud awanjagidde ensi ez’enjawulo okumuduukirira n’obuyambi mu kujanjabi abantu abasukka mu 300 abaakoseddwa mu kubwatuka kwa bbomu.
Abatujju abagambibwa nti bakabinja ka al-Shabab baakoze obulumbaganyi mu kitebe kya Minisitule y’ebyenjigiriza ku Lwomukaaga mu kibuga Mogadishu ne baleke abantu abasukka mu 100 nga z’embuyaga ezikunta.
Abattiddwa mulimu abakyala ssaako n’abaana.
Wabula omukulembeze w’eggwanga Hassan Sheikh Mohamud nga yakamala mu ntebbe ebbanga lya myezi 5 gyokka, asabye ensi, okumuddukira n’obuyambi okutaasa abafunye ebisago abasukka mu 300 okufuna obujanjabi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vJ9bcfXmPCE