Ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye bitandiise okunoonya abazigu abatannategeerekeka, abaalumbye Poliisi y’e Busiika mu disitulikiti y’e Luweero ne batta abasirikale 2.

Poliisi yalumbiddwa ku ssaawa nga 1:30 ez’akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo era abasirikale, baakubiddwa amasasi.

Abasirikale abattiddwa kuliko Wagaluka Alex abadde akulira okunoonyereza ku misango ku Poliisi y’e Busiika, Ongol Moses nga naye abadde musirikale ate omusirikale  Ochom Adrian ne Odama Stephen, baafunye ebisago ebyamaanyi ddala era batwaliddwa mu ddwaaliro ly’amaggye e Bombo ng’ali mu mbeera mbi.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti Odama ali mu mbeera mbi mu ddwaaliro.

Okusinzira ku ssentebe wa LC 3 mu tawuni Kanso y’e Busiika, Richard Nyombi, abazigu nga batuuse, baalagidde abatuuze okwegalira mayumba gaabwe, oluvanyuma lwe kulumba abasirikale.

Ate Resident District Commissioner – RDC we Luweero, Richard Bwabye agamba nti abazigu, baasobodde okubba emmundu 2 oluvanyuma kwe kulinya emmotoka ekika kya Drone okudduka nga badda mu bitundu bye Nakifuma.

Kigambibwa, abazigu bazze nga basukka mu 8 era bugenze okutya ng’ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye nga bikulembeddwamu addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero Living Twazagye, bayungudde abawanvu n’abampi okunoonya abatemu.

Wabula Ssaabaddumizi wa Poliisi, Martin Okoth Ochola asaasidde famire z’abasirikale abattiddwa era asuubiza abatuuze ku nsonga y’okunoonya ebatemu n’okuzuula ekigendererwa kyabwe eky’okulumba Poliisi, okutta abasirikale ssaako n’okubba emmundu.

Enanga agamba nti Poliisi esobodde okuzuula emmundu ekika ya pisito, abazigu gye baasudde nga badduka mu kifo.

Enanga era agamba nti IGP Ochola asiimye abatuuze abaavuddeyo okuyamba okuzikiza omuliro oluvanyuma lwa bazigu okugikumako omuliro.

Mu kiseera kino Poliisi n’amaggye beyongedde obungi mu disitulikiti y’e Luweero, okunoonya abazigu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q